Poliisi e Mubende eyigga omusajja agambibwa okukuba mukazi we payipu, n'amutta.
Kigambibwa nti baafunye obutakkaanya, omusajja n'akuba omukazi nti embeera bwe yatabuse n'amutwala mu ddwaaliro lya Kyenda, gy'afiiridde.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti oluvannyuma, omusajja adduse era bamuyigga.
Avumiridde ebikolwa eby'obutabanguko mu maka nga kino kivudde ku mwenge n'ebiragalalagala ebisusse.