Agambibwa okweyita mukyala minisita Tumwebaze n’atwala ssente mu lukujjukujju okuva ku mubaka wa palamenti asuze e Luzira.
Kigambibwa nti mu mwezi gwa June ne November mu bitundu by’e Kampala n'ekigendererwa eky'obufere,

Tumwebaze eyakwatiddwa
Tumwebaze yasisinkana omubaka ayitibwa Grace Ngabirano Akifeza gwe yatwalako obukadde 60 ng’amulimbyelimbye nti zaali zaakuyambako mu pulogulaamu za gavumenti zeetegeka.
Ono kigambibwa nti yamulimbalimba nga bw’akola ne ofiisi ya statehouse nti yali aweereddwa obuvunaanyizibwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulaba ng’anoonya disitulikiti ezaali zitakola bulungi okufuna ensimbi ezo bw’atyo n’afuna obukadde 60 okuva ku Ngabirano mu lukujjukujju.
Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno ategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku musango guno bwe kukyagenda mu maaso bw’atyo n'asaba kkooti okubawaayo obudde okwongera okunoonyereza.
Bannamateeka be okuli Asuman Matovu basabye kkooti okubawa olunaku olutali lwa wala basobole okusaba okweyimirirwa era omulamuzi ono amusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga July 20,2026.