Amawulire

Omukazi eyafera omubaka wa Palamenti obukadde 60 asuze Luzira

Hope Tumwebaze 53, munnabyabufuzi omutuuze w’e Mbarara y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Ritah Neumbe Kidasa ku musango ogwekuusa okufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku mubaka wa palamenti n’agwegaana.

Omukazi eyafera omubaka wa Palamenti obukadde 60 asuze Luzira
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

Agambibwa okweyita mukyala minisita Tumwebaze n’atwala ssente mu lukujjukujju okuva ku mubaka wa palamenti asuze e Luzira.

Hope Tumwebaze 53, munnabyabufuzi omutuuze w’e Mbarara y’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Ritah Neumbe Kidasa ku musango ogwekuusa okufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku mubaka wa palamenti n’agwegaana.

Kigambibwa nti mu mwezi gwa June ne November mu bitundu by’e Kampala n'ekigendererwa eky'obufere,

Tumwebaze eyakwatiddwa

Tumwebaze eyakwatiddwa

Tumwebaze yasisinkana omubaka ayitibwa Grace Ngabirano Akifeza gwe yatwalako obukadde 60 ng’amulimbyelimbye nti zaali zaakuyambako mu pulogulaamu za gavumenti zeetegeka.

Ono kigambibwa nti yamulimbalimba nga bw’akola ne ofiisi ya statehouse nti yali aweereddwa obuvunaanyizibwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulaba ng’anoonya disitulikiti ezaali zitakola bulungi okufuna ensimbi ezo bw’atyo n’afuna obukadde 60 okuva ku  Ngabirano mu lukujjukujju.

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno ategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku musango guno bwe kukyagenda mu maaso bw’atyo n'asaba kkooti okubawaayo obudde okwongera okunoonyereza.

Bannamateeka be okuli Asuman Matovu basabye kkooti okubawa olunaku olutali lwa wala basobole okusaba okweyimirirwa era omulamuzi ono amusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga July 20,2026.

Tags:
Amawulire
Luzira
Palamenti
Kufera
Mukazi kufera