Amawulire

Ebya Gen Muhoozi okutulugunya Besigye ne banne kkooti ebigobye

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma agobye okusaba kwa Dr. Kiiza ne Hajji Lutale kwe bassaamu nga baagala kkooti egobe emisango gyabwe nga bagamba baatulugunyizibwa CDF  Gen Muhoozi Kainerugaba n’abajaasi abalala abaabakwata.

Ebya Gen Muhoozi okutulugunya Besigye ne banne kkooti ebigobye
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

OMULAMUZI wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma agobye okusaba kwa Dr. Kiiza ne Hajji Lutale kwe bassaamu nga baagala kkooti egobe emisango gyabwe nga bagamba baatulugunyizibwa CDF  Gen Muhoozi Kainerugaba n’abajaasi abalala abaabakwata.

Omulamuzi agambye nti ensonga z’omuwawaabirwa okulinnyirira eddembe lye kkooti ebeera erina okuteeka essira ku nsonga ezigasa abantu bonna (public interests) ate n’ezaabawawaabirwa abagamba nti eddembe lyabwe lyatyoboolwa

Baguma agambye nti eddembe ly’omusibe okulinnyirirwa tekitegeeza nti ayimbulwe butereevu okuva mu kkomera wabula waliwo empenda nnyingi mwe basobola okuyita okusigonjoola wabula si kwagala kusimattuka kuvunaanibwa.

 Bw’atyo alagidde ab’amakomera okukkiriza balooya na Besigye okugenda mu kkomera boogere naye babawe ebikozesebwa okwekenneenya obujulizi bwonna obwabaweebwa oludda oluwaabi.

Aalagidde Besigye ne banne baleetebwe mu kkooti wiiki ejja nga July 13, 2026 okuwulira obujulizi butandike.

Besigye yali yawawaabira CDF Gen Muhoozi Kainerugaba ne bannamagye abalala ng’agamba baalinnyirira eddembe lyabwe bwe baali babakwata okuva e Kenya okudda kuno okutuuka lwe baatwalibwa mu kkooti y’amagye.

Tags:
Amawulire
Besigye
Gen. Muhoozi
Kuloopa
Poliisi