Amawulire

Omuwala omulala asindikiddwa e Luzira ku by'okutta eyali omuzannyi wa Rugby

OMUWALA omulala agambibwa okwekobaana n'abalala okutta eyali omuzannyi wa Rugby, Sydney Gongodyo asindikiddwa Luzira bw’asomeddwa omusango gw'obutemu.

Omuwala omulala asindikiddwa e Luzira ku by'okutta eyali omuzannyi wa Rugby
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

OMUWALA omulala agambibwa okwekobaana n'abalala okutta eyali omuzannyi wa Rugby, Sydney Gongodyo asindikiddwa Luzira bw’asomeddwa omusango gw'obutemu.



Monica Athieno 24, omutuuze mu zzooni y'e Bbiina e Nakawa awezeza omuwendo gw'abantu mukaaga ku musango gw’abagambibwa okutta omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo bw’asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Edgar Karakire ku Cityhall mu Kampala.

Sydney bwe yali afaanana.

Sydney bwe yali afaanana.



Kigambibwa nti nga June 5, 2026 Obed Mugwisa 39 eyalabikira ennyo mu katambi nga akuba Gongodyo ekiti nga muvuzi wa bodaboda mu zzooni ya Nsimbiziwoome e Nakawa.

 

Abalala kuliko, Ellen Mondoni 33, atambuza eddagala ku Medicinal Pharmacy omutuuze w'e Luzira ne Joseph Owino 30, Henry Kabugo 21 muvuzi wa Boda nga bombi batuuze e Bukoto, Jethero Murishid Rugaba 33 mutuuze wa Nsimbiziwoome n'abalala nga bakyanoonyezebwa ku musango guno.



Omuwaabi wa Gavumenti Grace Miriam Akite ategeezeza nti okunonyereza nga kukyagenda mu maaso ku musango guno Athieno asobola okusaba okumweyimirira mu kkooti enkulu.



Agamba olw'okuvunaanibwa omusango ogwa naggomola kkooti eyo terina buyinza kumuwozesa wadde okuyimbula.

Athieno eyasibiddwa.

Athieno eyasibiddwa.



Omulamuzi Karakire ategeezezza nti Athieno n'abalala abavunaanibwa ku musango guno baakuddizibwa mu kkooti nga July 23, 2026.



Gongodyo okuttibwa baamulowooleza okusika akasawo k'omukyala kwe kumukuba bubi nnyo nga bakozesa ebissi omuli; amayinja n'ebiti ekyamuviirako okufa ng’atwalibwa mu ddwaliro e Mulago.



Ono yali muzannyi mu kiraabu ya Rugby owa Stanbic Black Pirates ng’azannyira ne ku ttimu y'eggwanga eya Rugby Cranes

Tags:
Amawulire
Sydney
Gongodyo