Amawulire

Omuyizi wa Nalya ss asangiddwa ng'afiiridde mu kaabuyonjo y'essomero!

Kigambibwa nti omuyizi ono, abadde asomera mu ssomero lya Naalya S.S e Bweyogerere  Campus mu munisipaali y’e Kira e Wakiso.

Omuyizi wa Nalya ss asangiddwa ng'afiiridde mu kaabuyonjo y'essomero!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Bweyogerere, eri mu kubuuliriza ku muyizi ow'emyaka 18, asangiddwa ng'afiiridde mu kaabuyonjo y'essomero.

Kigambibwa nti omuyizi ono, abadde asomera mu ssomero lya Naalya S.S e Bweyogerere  Campus mu munisipaali y’e Kira e Wakiso.

Kitegeezeddwa nti ono yasangiddwa eggulo akawungeezi ng'afiiridde mu kaabuyonjo y'abayizi abalenzi, era ng'omulambo guggyiddwayo, ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago, okugwekebejja.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti waliwo akapapula akazuuliddwa nga kisuubirwa nti omugenzi ye yakawandiise era okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Nalya SS Bweyogereere
Kira
Wakiso
Kufa
Kitalo