Amawulire

Obulippo obuli mu kusuuza aba NUP ebifo mu Palamenti

OLUKWE lw’ekisinde kya Patriotic League of Uganda, okusuuza akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, n’okujaabulula amaanyi ga NUP ag’okulonda abakulembeze b’oludda oluvuganya, lwolekedde obulippo obw’amaanyi.

Omubaka Denis Namara, Palamenti gwe yawadde olukusa okugenda mu luwummula asobole okuleeta ebbago erigoba Ssenyonyi ku ky'okukulira oludda oluvuganya.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLUKWE lw’ekisinde kya Patriotic League of Uganda, okusuuza akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, n’okujaabulula amaanyi ga NUP ag’okulonda abakulembeze b’oludda oluvuganya, lwolekedde obulippo obw’amaanyi.
Omubaka Denis Namara (Buyaga West), Palamenti yamuwadde olukusa okukola ennongoosereza mu tteeka erifuga entambuza y’emirimu mu Palamenti erya Administration of Parliament Act, ng’ayagala okuteekamu obuwaayiro obulambika engeri akulira oludda oluvuganya mu Palamenti gy’agobebwa mu kifo ekyo, engeri gy’alondebwamu, n’engeri ebifo bya bassentebe b’obukiiko obukulirwa oludda oluvuganya gye balondebwamu. Namara yagambye nti, wabaddewo obwannakyemalira mu kulonda ebifo by’oludda oluvuganya mu Palamenti, ng’ebibiina ebirala ebitaafuna babaka bangi tebyebuuzibwako, ky'agamba nti kiba kikyamu mu nfuga eya demokulasiya.

Wabula ab’oludda oluvuganya bagamba nti, bagenda kuwakanya etteeka lino ne ssekuwakanya yenna, kubanga lireeteddwa mu mutima mubi, era ligenderera kunafuy  udda luvuganya, kyongere okutta demokulasiya.
EBIRI MU TTEEKA LYA NAMARA
Namara mu buwaayiro bw’ayagala okuteeka mu tteeka lino kuliko; l Ebibiina by’oludda oluvuganya oba omukago gw’ebibiina by’oludda oluvuganya, n’ababaka abatalina kibiina kya byabufuzi, okwetaba mu kulonda akulira oludda oluvuganya mu Palamenti.
l Era ayagala okussaamu ensonga ezireetera akulira oludda oluvuganya okuggyibwa mu kifo kino, omuli; okufuna obulemu ku mubiri oba mu bwongo, okusiiwuuka empisa, okumenya amateeka, n’obutaba na busobozi oba ebisaanyizo okutuula mu kifo ekyo.
l Omuntu abeera agobeddwa mu kifo ky’akulira oludda oluvuganya, Namara ayagala aleme kuddamu kuweebwa kifo kirala kyonna mu Palamenti, mu kisanja ekyo.
l Era ayagala baminisita ku ludda oluvuganya, Palamenti yonna esooke kubakakasa ku bifo byabwe.
l Mu kulonda abakulira obukiiko obukulemberwa oludda oluvuganya, ababaka b’oludda oluvuganya abakiika mu Palamenti ezitaba amawanga ag’enjawulo, ne kominsona wa Palamenti ava ku ludda oluvuganya, Namara mu nnongoosereza z'aleeta ayagala bwe baba balondebwa, akulira oludda oluvuganya asooke kwebuuza ku bibiina byonna eby’ebyobufuzi mu Palamenti.
PULAANI Y’OKUFULUMYA SSENYONYI
Mu nnongoosereza zino, Namara yataddemu akawaayiro nti etteeka lino olunaamala okuyita, Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya mu kiseera kino, aweebwe emyezi esatu afulume ofiisi, akulira oludda oluvuganya addemu alondebwe bupya okusinziira ku tteeka lino eppya.
OBULIPPO MU KUGOBA SSENYONYI
Wadde Namara yaweereddwa olukusa okukola ennongoosereza zino, olusozi gambalagala lukyaliwo.
Etteeka eryefaanaanyirizaako lino, lyaleetebwa eyali omubaka wa Mityana South, Richard Lumu mu Palamenti ey’e 11, kyokka ebibiina by’obufuzi byonna byaliwakanya, omuli ne NRM, nga bagamba nti litta demokulasiya.

Ku mulundi guno kino kirindiriddwa okulaba oba erya Namara banaaliwagira. Omubaka Richard Lumu, yagambye nti etteeka lya Namara ligendereddwaamu kunafuya ludda luvuganya, era ajja kugenda mu kakiiko aliwakanye.

Lumu agamba nti ye yali ayagala kwongera bibiina bya ludda luvuganya maanyi nga buli kibiina kiwulira nti kirowoozebwako.
Ye yali ayagala ebibiina ebivuganya byonna bironde, naye nga bironda ku bantu abasindikiddwa ekibiina ekisinga ababaka abangi mu Palamenti, kyokka ate ye Namara ayagala buli wa ludda luvuganya ayagala yeesimbewo, ate n’ababaka abatalina bibiina nabo balonde, ekintu ekikyamu ennyo, ekigenda okunafuyiza ddala oludda oluvuganya.
Wabula yakiikidde aba NUP ensingo olw’obutalaba muwaatwa gwaliwo ne badda mu kumuvuma mu kifo ky’okusalira awamu amagezi, kubanga ye yakiraba dda nga waliwo omuwaatwa NRM gw’esobola okukozesa okubanafuya.
Ate Ssaabawolereza w’oludda oluvuganya mu Palamenti, Erias Luyimbaazi Nalukoola, yagambye nti obuwaayiro obuli mu tteeka lya Namara bulaga obwannakyemalira n’obutayagala kugoberera mateeka.
Yannyonnyodde nti, akawaayiro akagamba nti etteeka bwe liyita, Ssenyonyi bamuwa emyezi esatu okufuluma, kasobola kuyita m mbeera ya bwannakyemalira kubanga mu nsi egoberera amateeka buli omu akimanyi nti etteeka terikola nga lidda mabega.
Yawadde ekyokulabirako, nti ne mu 2017, ababaka ba Palamenti bwe baayisa etteeka lya Togikwatako, ne beeteeramu akawaayiro nti ekisanja kyabwe kibeere kya myaka  musanvu ate nga kitandikira ku bo, kkooti yakisazaamu kubanga etteeka abantu mwe baabalondera lyali ligamba emyaka etaano. Ne mu mbeera eno bwe kiri, kubanga Ssenyonyi yalondebwa mu tteeka ddala, ng’olina kulinda ekisanja kye ne kiggwaako,
n’okola by’oyagala.
Ate ye amyuka Pulezidenti wa D.P, Denis Mukasa Mbidde, yagambye nti etteeka lino ligendereddwaamu kuggyawo buyinza bwa bibiina bya ludda luvuganya, eky'obulabe mu nfuga eya demokulasiya. Obuyinza buno Mbidde agamba nti, ssemateeka y'abuwa abantu era enjogera agamba nti amaanyi gali mu bantu w’eva. Amaanyi g’abantu abangi, abaalonda NRM baagiwa obuyinza okukola gavumenti era teri abayambako kukikola.
Mu ngeri y’emu, aba NUP abaakwata ekyokubiri nabo bali ku buyinza bwa bantu, y’ensonga lwaki baweebwa obuyinza okulonda ebifo ebimu mu Palamenti. Yawabudde
nti, etteeka eryetaaga okukolebwa, lye ly'okulonda akulira ababaka abatalina kibiina kya byabufuzi kyonna kuba bangi ate tebalambikiddwa bulungi.
LWAKI AKULIRA OLUDDA OLUVUGANYA ALONDEBWA
Ekirowoozo ky’okulonda akulira oludda oluvuganya, kyatandikira Bungereza mu kyasa eky’e 19, okukuba ttooci mu kibiina ekiri mu buyinza. Wabula waaliwo okusika omuguwa okw’amaanyi nga mu kiseera ekyo okuwakanya gavumenti ya Kabaka w’en Bungereza kwalinga okulya mu nsi olukwe.

Kyokka demokulasiya bwe yagenda akula, kyazuulwa nti omuntu asobola okuwakanya amateeka amabi n’enkola za gavumenti, naye ng’akikolera mu mutima ogwagala eggwanga lye. Enkola eno yasaasaana mu mawanga Bungereza ge yafuga ng’amatwale nga ne Uganda mw'eri.

Tags: