Amawulire

Abatuuze b’e Kitintale - Mutungo basattira lwa kkampuni eyeegwanyiza ettaka lyabwe

ABATUUZE ba Kitintale Zone 12 mu Nakawa basattira olwa kkampuni ya Uganda Motors okugamba be bannannyini ttaka okutudde abantu abasoba mu 600.

Balimwezo (ku ddyo) ng’ayogerako eri abatuuze ku nosnga z’ettaaka lyabwe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABATUUZE ba Kitintale Zone 12 mu Nakawa basattira olwa kkampuni ya Uganda Motors okugamba be bannannyini ttaka okutudde abantu abasoba mu 600.
Bano baagala Gavumenti erigule kyokka abatuuze bawakanyizza ebiwandiiko bye baleese ne babagoba. Okusattira kuno kwabadde mu lukiiko olwayitiddwa ssentebe wa Zooni eyo Godfrey Ndawula nga kino kyaddiridde okutukirirwa abantu 3 abakulembeddwa Nelson Mandela ne Peter Ogutu ne bamutegeeza nga bwe bali bannannyini ttaka eriri mu kitundu kye ku Block 243 Plot 216,1025 ne 1027 nga lwagulwa Uganda Motors.

Baamuleetedde ebbaluwa okuva mu minisitule y’ebyettaka ng’eteereddwaako omukono gwa Ibrahim Magemeso akola nga kamisona avunaanyizibwa ku by’okupunta nga bagiwandiikidde Town Clerk w’e Nakawa nga baagala abayambeko okupunta ettaka eryo n’okubalirira abantu abaliriko.
Ndawula agamba olwafuna ebiwandiiko ebyo teyabisirikira n’ayita olukiiko lw’ekyalo bazituulemu n’okwanjula abasajja abazze eri abatuuze. Olukiiko lwetabiddwaamu abakulembeze okwabadde Loodi Mmeeya wa Kampala, Ronald Balimwezo, mmeeya w’e Nakawa Ali Buken (Nubian Li) n’abalala.
Mu lukiiko luno Mandela yagambye nti ettaka lino lya Uganda Motors Limited ng’ekitongole kino kyagulwa abantu ab’enjawulo era ng’omu ku bo ye Ogutu era kkampuni eno yalina ettaka lingi okuli n’eriri e Banda.
Yategeezezza nti tebalina kigendererwa kya kusengula baliriko wabula baagala kwerula mpenda bamanye ettaka lyabwe we liyita ne baani abaliriko nga baagala Gavumenti eribaguleko y’emanyi engeri gy’eneekolaganamu n’abatuuze.
Wabula Ndawula n’abamu ku batuuze be tebakkaanyizza ne Mandela nga bagamba nti tebamanyi oba ddala be bannannyini ttaka abatuufu kuba ne kkampuni ya Uganda Motors eyogerwako tekyaliiwo.
Abatuuze bagamba nti tebaamatidde biwandiiko bye baleese ku ttaka lino ne beebuuzizza lwaki abeeyita bannanyini ttaka tebaasoose kutuukirira bo mu kifo ky’okugenda mu minisitule! Ndawula yagambye nti baleke abatuuze bo bagende mu minisitule ebagulire ettaka lino sso si Mandela ne Ogutu kubeesooka.
Okusinziira ku byapa ebyanjuddwa, Ndawula agamba nti biriko obunene bwa yiika ezisoba mu 20 era ng’abatuuze abasoba mu 600 abaazimbako be bakosebwa kuba balibaddeko okumala emyaka 30.
Balimwezo yagumiza abatuuze kituufu ekitongole kya Uganda Land Fund gyekiri okigula ettaka ne balidizza abantu era kikoze mu bitundu eby’enjawulo. Baasazeewo okwongera okwekkaanya ebiwandiiko ebyaleeteddwa okumanya oba ddala bituufu n’okumanya oba abaabireese be bannannyini Uganda Motors eyogerwako.
Baataddewo akakiiko oku21noonyereza ku nsonga eno nga ne Balimwezo kw’ali balabe be bayinza okuyambamu abatuuze kuba ebyapa bingi baabisazaamu e Nakawa. David Kintu omu ku batuuze, yawakanyizza engeri ekyapa ky’ettaka lino gye kyakyusibwa mu 1988 okuva mu mannya ga Musa Katinti okudda mu ga Uganda Motors n’agamba nti waliwo obufere obwakolebwa mu kyapa kye baabaletedde.
Mandela yawakanyizza eky’abatuuze abaagambye nti bafere n’agamba nti obukakafu obulaga nti be bannannyini ttaka lino era betegefu okukolagana n’akakiiko akateredwako Balimwezo okunonyereza ku nsonga zino

Tags: