Kino kiddiridde okuwamba omwana Ryan Lukyamuzi 7, omuyizi mu Sedin Paul Kiboga okuva ku nnyina Hanifah Nabuggwaawo 27, omukozi ku mobile money ng'asula Kabakanjagala cell mu Kiboga town.
Kigambibwa nti Saul, yabuzaabuzizza omwana n'amuwamba n'abulawo naye ku pikipiki era n’amukweka ewuwe.
Kitegeezeddwa nti yamukwasizza mukyala we Agnes Ainembabazi e Kawango mu muluka gw'e kiteredde mu ggombolola ya Mulangi e Kyankwanzi, ne bamukuumira mu kasenge n'ekigendererwa eky’okukanda abazadde ssente.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti Nkwanga ne mukazi we Agnes, babakutte era omwana ne bamununula ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.