Poliisi e Kiboga eri mu kuyigga omukazi aggyemu olubuto , omwana n'amusuula mu kabuyonjo y'omutuuze mu kitundu.
Mu ngeri y'emu era bayigga abayinza okuba nga bamuyambyeko okuluggyamu omwana ne bamusuula mu kabuyonjo.
Kitegeezeddwa nti omwana ono akkiriza okujjamu olubuto nti ng'ayambibwako nnyina Jesca Nakibuule , muganda we Justine Nalugo n'omusawo agambibwa okumuwa eddagala eryalujjeemu.
Abatuuze b'e Kajjere bagamba nti nnyina w'omwana Jesca Nakibuule , yali ayagalana ne Brian Bakuza mbu eyamusuulawo ate n'abakana ne muwalawe Nampijja mbu era okuva olwo babadde ku mbiranye bwe yafuna olubuto.