Amawulire

Abavubuka abagambibwa okutigomya abatuuze b'e Luweero, Nakasongola, Ziroobwe, Bombo ne Nakaseke, Poliisi ebakutte

Abantu nga 30 abagambibwa okuba aboomutawaana mu kutigomya abatuuzde b'e Luweero, Nakasongola, Ziroobwe, Bombo ne Nakaseke, bakwatiddwa poliisi. 

Abavubuka abagambibwa okutigomya abantu ku poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu nga 30 abagambibwa okuba aboomutawaana mu kutigomya abatuuzde b'e Luweero, Nakasongola, Ziroobwe, Bombo ne Nakaseke, bakwatiddwa poliisi. 

Abamu ku bakwatiddwa, kuliko Reagan Kalyango amanyiddwa nga "My Lord" nga y'agambibwa okukuliramu ekibinja, Ismail Ssenyonga amanyiddwa nga "Kashagama", Umar Ivan Kigenyi ne Hussein Muteesaasira amanyiddwa nga "Kapere." 

Abavubuka abaakwatiddwa

Abavubuka abaakwatiddwa

Bano kigambibwa baludde nga bakuba abantu peeva, amayinja, obutayimbwa, okubatema amajambiya , okuteega aba bodaboda ne bazibba okumenya amayumba mu Kizito zooni e Bombo mu town ne Nakaseke. 

E Bajjo Bombo, Buyego, ku mile 21, bataano bakwatiddwa ate abalala 7 bagiddwa Kasana, 10 Kalagala. 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti bakutwalibwa mu kkooti ku misango egyenjawulo era nga waliwo n'ebizibiti ebizuuliddwa. 

Tags:
poliisi
Reagan Kalyango
My Lord
Ismail Ssenyonga
Kashagama