Amawulire

Poliisi eyodde 100 ku by'okutigomya Kampala, Wakiso ne Mukono

Mu kwongera okulwanyisa obubbi n'ebikolwa ebikyamu, poliisi eyodde abantu abasoba mu 100 mu bikwekweto ebikoleddwa nga bukya, mu Kampala, Mukono ne Wakiso

Poliisi eyodde 100 ku by'okutigomya Kampala, Wakiso ne Mukono
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Mu kwongera okulwanyisa obubbi n'ebikolwa ebikyamu, poliisi eyodde abantu abasoba mu 100 mu bikwekweto ebikoleddwa nga bukyamu, mu Kampala, Mukono ne Wakiso.

 

E Mukono bikoleddwa mu Kamwanyi, Ham Mukasa, Kasokosi, Lwadda ne Nnamanve ne bakwata 22. E Naggalama, mu Kalagi, Katonga Ghetto, Kakoola n'ebitundu ebyetooloddewo, bakutte 21.

 

E Kira road, Kisaasi, Ddungu zzooni, kikulu zzooni, n'awalala, bakutte 13. E Kabalagala ekikwekweto nayo kiyodde 38.

 

Mu bikwekweto bino, poliisi ezudde ebintu ebiwerako  ebyeyambisibwa okumenya amayumba, ebintu ebigambibwa okuba ebibbe, n'ebiragalalagala. Omwogezi wa poliisi mu Kampala  n'emiriraano, Racheal Kawala, agambye nti bakyabasunsulamu.

Tags:
Mukono
Wakiso
Kampala
Kutigomya
Kuyoola
Poliisi