Poliisi e Mityana, eyigga abatemu abaayingiridde omusuubuzi ne bamuttira mu dduuka lye, mw'abadde akolera.

Kigozi ng'annyonnyola
Kigambibwa nti abazigu baamufumise ekiso mu bulago ne bamulesa omwana ow'emyaka Omusanvu
Okumulaba, kiddiridde omutuuze Eron Nampewo, okutuma omwana ebintu ku dduuka n'asanga nga waggule naye nga Nansubuga abolooga ataawa nti kwe kuyita nnyina ne bamuyoolayoola okumutwala mu ddwaliro kyokka n'afiira mu kkubo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omulambo bagututte mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mityana ng'okuyigga abatemu bwe kugenda mu maaso.