FFAMIRE ne bannamateeka b’eyali omubaka wa Butambala, Muhammad Muwanga Kivumbi bakyalemeddwa okuzuula omuntu waabwe gy'akuumibwa oluvannyuma lw’okuddamu okukwatibwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Kivumbi yasoose kuyimbulwa ku Lwokuna ku kakalu ka kkooti oluvannyuma lw’okumala emyezi mukaaga mu kkomera okuva lwe yakwatibwa nga January 22, 2026.
Omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa bakalintalo, Susan Okalany ye yakkirizza Kivumbi okweyimirirwa oluvannyuma lw’okuleeta abajulizi ab’obuvunaanyizibwa, alina amaka era nga oludda oluwaabi tebaaleese bujulizi bulaga nti ajja kutaataaganya okunoonyereza kwa poliisi.
Omu ku bannamateeka ba Kivumbi, Samuel Muyizzi yagambye nti baagezezzaako okubuuliriza mu bitongole by’okwerinda naye tewali ababuulira watuufu w'ali.
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yagambye nti, kyewuunyisa okuba nga wayise ennaku bbiri bukya Kivumbi akwatibwa emisana ng’ensi eraba n’atwalibwa ab’ebyokwerinda.
“Poliisi erina okutunnyonnyola gy'ali kuba yakwatibwa weebali n’atwalibwa abasajja abaali beesibye obukookolo mu maaso ne bamuteeka mu mmotoka ekika kya drone (Toyota Hiace) ne bamutwala,” bwe yagambye.
Yagambye nti ennyingo ya 23 eya Konsitityusoni erambika bulungi nti omuntu ateeberezebwa alina eddembe lye okumanya lwaki akwatibwa, ekitongole ky’ebyokwerinda ekimukutte era n’asibibwa mu kifo ekimanyiddwa mu mateeka mu ssaawa ezitasukka 48.
Omukwate alina eddembe okufuna bannamateeka, okufuna obujjanjabi, obutatulugunyizibwa era n’ategeeza ne ffamire gy'akuumirwa. Kyokka byonna tewali kyagobereddwa mu kukwata Kivumbi.
Omu ku baganda ba Kivumbi eyasabye amannya gasirikirwe yagambye nti bali mu kutya era ensonga baazirekedde bannamateeka baabwe.
“Nga ffamire twasazeewo ensonga okuzikwasa Allah kuba byatususseeko, kyokka ekitugumyamu kwe kuba nga yakwatiddwa mu maaso g’abantu emisana nga waliwo ne kkamera ezaakutte buli kimu. Naye tetumanyi mbeera gy'alimu ate nga n’ebitongole by’okwerinda bikyasirise byonna” bwe yagambye.
Bukedde yalemeddwa okubaako okunnyonnyolwa kw'efuna mu by’okwerinda ng’ensonga bagyebalama. Eggulo we bwawungeeredde, nga tewali kiwandiiko kyokka kyafulumiziddwa bitongole bya kwerinda.