OBWAKABAKA bwa Buganda butongozza kaweefube w’okulwanyisa omusujja gw’ensiri n’omulanga eri abantu okwongera amaanyi mu kukozesa obutimba bw’ensiri obufuuse mmo mu kutta Bannayuganda.
Okusaba kuno kukoleddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Munnalotale Robert Waggwa Nsibirwa bwabadde atongoza enteekateeka y’okugaba obutimba bw’ensiri obuwerera ddala obukadde 4.7 okwetoloola Obwakabaka bwonna okulwanyisa omusujja guno.
“Njagala okukubiriza abantu ba Buganda ku nsonga zino; abazadde mulabe nti mutwala abaana abatuuse ku myaka egy’okugemebwa, bagemebwa omusujja gw’ensiri. Abanafuna obutimba bw’ensiri, tubusulemu buli lunaku,” Nsibirwa bwayogedde
Waggwa Nsibirwa asabye abaami ba Kabaka wamu n’abazadde okulaba ng’abaana batwalibwa okugemebbwa omusujja gw’ensiri ng’enteekateeka eno egenda kubayamba obutakwatibwa musujja naddala abo abali mu massomero.

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Waggwa nsibirwa ng'akwasibwa kaminsana obutimba bw'ensiri
Abantu, Omuwanika Waggwa Nsibirwa abaggumizza ng’eddagala lino erigenda okukozesebwa okugema abaana bweriri etuufu era eddungi nga lyakakasibwa ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu n’abasaba baleme kutya.
Komisona w’okusomesa abantu ku ndwadde mu minisitule ey’ebyobulamu, Dr. Richard Kabanda agambye nti beekutte ku Bwakabaka okusomesa abantu ku kwewala endwadde okuli omusujja n’agamba nti bakizudde nti abantu abali mu bitundu by’obukiikakkono bwa Buganda bwebakyali abanafu mu kwewala ebyo ebiyinza okusasanya omusujja gw’ensiri.
“Tuli wano okusaba Obwakabaka okutukwatizaako omulimu guno. Omulimu gw’okutumbula eby’obulamu si gwa gavumenti yokka naye buli muntu alina obuvunanyizibwa. Twebaza Obwakabaka kubanga tukoze nabwo ebbanga ddene okutumbula eby’obulamu n’okuziyiza endwadde,” Dr. Kabanda bwayogedde ku nteekateeka eno.
Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Nakate Kikomeko yeebazizza Minisitule y’ebyobulamu mu Uganda olwa buli kadde okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda okutumbula eby’obulamu n’ayongerako nti bagenda kukola enteekateeka ennungi enasobozesa okugaba obutimba kyokka n’okusomesanga abantu ebikwata ku kwewala obulwadde buno