Ssentebe wa PDM mu muluka gwa Matugga mu diviizoni y’e Gombe, Jessica Naggita atunudde ebikalu bw’abadde akunyizibwa RDC wa Nansana ku bigambibwa nti yeenyigira mu mivuyo gya PDM ng’agya ssente ku bantu okusobola okuganyulwa mu pulojekiti eno.

Naggita Nga poliisi emutwala.
Wabula, Naggita yeegaanye ebimwogerwako n’ategeeza nti mpalana za kyalo kyokka n’asaba okusonyiyibwa.

Rdc Lwanga Ng'ayogera Ku nsonga Za Pdm
Wano RDC wa Nansana charles Lwanga w’alabulidde nti ebikwekweto by’okufuuza bonna abeenyigidde mu kudibaga pulojekiti za gavumenti omuli emyoga ne PDM tebigenda kuttira muntu yenna ku liiso