Amawulire

Abaaweebwa eza PDM baweereddwa amagezi

ABANTU abaafuna Ssente akakadde akamu mu Pulogulaamu ya PDM baweereddwa amagezi okwettanira emisomo egikwata ku nzirukanya ya Business kibanguyize okwekulaakulanya.

Abamu ku bantu abeetabye mu musomo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Zulaika Iqra Nakato 

ABANTU abaafuna Ssente akakadde akamu mu Pulogulaamu ya PDM baweereddwa amagezi okwettanira emisomo egikwata ku nzirukanya ya Business kibanguyize okwekulaakulanya.

Amagezi gano abantu abaafuna Ssente za PDM,gabaweereddwa akulira Uganda Development Edward Katende ng'ono asinzidde mu kwogerako mwoleso gw'eby'obulimi  ogw'omulundi ogwa 32 2026 ogubadde e Jinja.

Edward Katende Executive Director wa Uganda Development Forum  ng'annyonnyola

Edward Katende Executive Director wa Uganda Development Forum ng'annyonnyola

Mu mwoleso guno abantu abaafuna Ssente za PDM,baayolesezza ebintu  ebyenjawulo byebakola omubadde abalimi,abalunzi n'abalala abakugu okusobola okubasasula.

Katende agambye nti kinakuwaza okuba nti abamu ku bantu abafuna akakadde ka PDM bakazza mu kugula ebintu ebitagasa olwo ssente ne zibafaako n'ategeeza nti kikulu nnyo abantu okuyayanira okusoma ku bikwatagana n'enkwata ya Ssente.

Ono agambye nti omuntu asomeseddwa ku nkwata ya Ssente asobola bulungi okweyambisa akakadde ka PDM okukyusa obulamu bwe ko n'abo mu maka ge.
Katende ayongeddeko nti omulamwa gwa gavumenti omukulu kati kugya Bannayuganda mu bwavu n'akunga abantu abafunye eza PDM okufungiza okukola.

Abantu nga bali mu musomo

Abantu nga bali mu musomo

Ono yayogedde ku kwongera omutindo ku bintu abantu byebakola n'ategeeza nti

okwongerako omutindo kwe kusobola okuyamba abantu okwongeza ku nnyingiza yaabwe.

Mu ngeri y'emu n'ab'ekitongole ky'Amakomera ekya Uganda Prisons Services ekikidwa Generous Betunga Behabura superintendent  of livestock and Entomology baayolesezza ebintu eby'enjawulo byebakola omwabadde n'ensigo za Kasooli ow'Embala ne bakuutira abalimi okwongera okussa essira ku nsonga y'omutindo.

Tags: