Amawulire

Abeegwanyisa obwassentebe bw'ebyalo batandise okuggyayo empapula

ABEEGWANYIZA obwassentebe bw'ebyalo mu disitulikiti y’e Wakiso batandise okuggyayo empapula z'okwewandiisa okusobola okuvuganya ku byalo eby'enjawulo mu kulonda okugenda okubaawo nga July 28, 2026.

Abeegwanyisa obwassentebe bw'ebyalo batandise okuggyayo empapula
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

ABEEGWANYIZA obwassentebe bw'ebyalo mu disitulikiti y’e Wakiso batandise okuggyayo empapula z'okwewandiisa okusobola okuvuganya ku byalo eby'enjawulo mu kulonda okugenda okubaawo nga July 28, 2026.

 

Bassentebe ab'enjawulo oluvannyuma lw'okwewandiisa mu nkalala, ku Lwokuna baakedde kugenda kumiruka egy'enjawulo okuggyayo empapula z'okwewandiisa basobole okuvuganya obulungi mu kulonda.

 

Ku bano kwabaddeko ssentebe amaze emyaka 40 ng'akulembera ekyalo Buyenje mu muluka gwa Lukwanga ng'agamba nti olw'obumanyirivu bw’alina, akomyewo ayongere okuweereza abantu n'obwenkanya.

 

Francis Xavier Lukwago agamba nti yafuuka ssentebe w'ekyalo mu 1986, era emyaka gy’amazeeko abadde musaale nnyo mu kutaasa abantu ababbibwako ettaka, ssaako n'okulaba ng'akolagana ne poliisi mu kutumbula ebyokwerinda.

 

"Wadde bagamba nti nkaddiye, obwongo bwange bukyakola era nsuubiza abatuuze bange nti ngenda kusigala nga mbaweereza n'obwenkanya ssaako n'okulaba nga pulogulaamu za Gavumenti zeeyongera okubukala ku kyalo abantu bejje mubwavu." Lukwago bweyayongeddeko.

 

Ye ssentebe w'ekyalo Gimbo era mu Lukwanga, Aaron Ndyanabo mu kukima empapula z'okwewandiisa yatambuza kigere okuva ku ofiisi ye okutuuka ku ssomero lya St. Ludigo e Gimbo, wakati mu bawagi be okuyisa ebivvulu n'okufuuwa vuvuzela.

 

Yagambye nti ekisanja kyamalako yakifunira wakati oluvannyuma lw’eyali ssentebe okufa, kyokka nti ebintu by’akoze byaleetedde abantu okuddamu okumwesiga ne bamusaba yeesimbewo.

 

"Nzijeeyo empapula z'okwewandiisa okuddamu okukulembera Gimbo ku kkaadi ya NRM, ntunulidde okutumbula embeera z'abavubuka okulaba ng'abali mumize emikyamu babaako kye bekolera nga bayita naddala mu ssente za PDM." Ndyanabo bweyayongeddeko.

 

Yagambye nti n'ebibiina by'abakyala agenda kwongera okubitumbula, ng'abakunganya ssaako okubasomesa okukolera ewamu olwo baganyulwe nemunteekateeka za Gavumenti.

 

Abalala abaggyeeyo empapula z'okwewandiisa kuliko, Florence Nakalema ayagala ekya ssentebe wa Lukwanga, ne Geoffrey Isingoma ayagala ekya ssentebe w'ekyalo Nabukalu.

 

Abakozi mu kakiiko k'ebyokulonda mu miruka egy'enjawulo e Wakiso baategeezezza nti abantu bajjumbidde okwewandiisa mu nkalala z'ebyalo, era Bukedde ebyalo bye yatuuseeko, abantu abali wakati wa 800-1000 be baakewandiisa ku byalo eby'enjawulo.

Tags:
Ssentebe
Bitabo
Mpapula
Kuggyayo
Byalo
Kwegwanyisa