Amawulire

MINISITULE y'ettaka erabudde bonna abeesenza ku ttaka lya gavumenti okulyamuka

MINISITULE y'ettaka erabudde bonna abeesenza ku ttaka lya gavumenti okulyamuka .

MINISITULE y'ettaka erabudde bonna abeesenza ku ttaka lya gavumenti okulyamuka
By: Sharon Nabasirye, Journalist @New Vision
MINISITULE y'ettaka erabudde bonna abeesenza ku ttaka lya gavumenti okulyamuka .
 
Bino byogeddwa minista omubeezi ow'ettaka okuzimba n'okuteekerateekera ebibuga Harriet Ntabaazi bwabadde omugenyi omukulu ku mukolo gwokutongoza omulimu gw'okuwandiisa ettaka lyonna erya gavumenti .
Omukolo guno gubadde ku Mestil Hotel e Nsambya 
 
Ntabaazi agamba ettaka lya gavumenti bantu balizanyiddeko nnyo nga alowooza nti ensonga yandiva ku kubutaliwandiisa .
 
 
Agamba baagala okufuna ekiwandiiko ekyawamu ekikwata ku ttaka lya gavumenti nga bwekiri mu minisitule za gavumenti endala era babigatte ku mutimbagano 
 
 
Asinzidde wano nalabula bonna abeesenza ku ttaka lya gavumenti okulyamuka nga abo abaliriko nebiwandiiko bakuliyirirwa 
 
 
Agamba ssente z'eggwanga nyingi eziggwera mu kuliyirira abantu ekintu ekikeereya enkulakulana
 
Ssentebe wakakiiko k'ettaka Prof. Mogi Nyeko agamba kyannaku nti waliwo ebifo ebimanyiddwa nga bya gavumenti kyokka osanga omuntu wabulijjo nga abirinako ekyapa wamu nokuzimbamu ate oluvanyuma nebanyigira gavumenti nga ebasengudde .
 
Awadde amagezi abesenza mu ntobazi okuzimbamu ebizimbe ebyakaseera nga ekitongole kya NEMA bwekijja okubasengula tebafiirwa kinene, nga kino tekirina koma ku bantobazi bokka wabula nabazimbye mu bibira era etteeka terijja kwata baavu bokka wabula nabagagga
Tags: