OMUNTU omu afiiriddewo n'abalala 20 ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Kasese.
Afudde abadde tannategeerekeka bimukwatako era ng'omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Kasese ate abalumiziddwa ne batwalibwa mu malwaliro ag'enjawulo.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East, Elly Maate, agambye nti emmotoka , ekuumirwa ku poliisi e Rugendabara okugyekenneenya, ng'okubuuliriza ku kivuddeko akabenje , kukolebwa.