Amawulire

Abasawo okuva e Mulago bategeezezza nti  Lukwago yetaaga okugenda e India afune obujjanjabi singa takikola ayinza okufa

ABAKUGU okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago balagidde Ssalongo Erias Lukwago atwalibwe e India abasawo abaamukolako bongere okumwekebejja.   

Medard Lubega sseggona munnamateeka wa Lukwago ng'ali ku kkooti
By: Margret Zalwango, Journalist @New Vision

ABAKUGU okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago balagidde Ssalongo Erias Lukwago atwalibwe e India abasawo abaamukolako bongere okumwekebejja.

Lukwago bino abyanjulidde kkooti mu bbaluwa eyamuweereddwa abasawo e Mulago bwebabadde bamusibuula okudda e Luzira oluvanyuma lw'okumwekebejja.

Lukwago taleteddwa mu kkooti wabula asinzidde ku mukutu gwa zoom e Luzira agambye nti alina ebbaluwa eyakoleddwa abakugu bataano abamwekebejje okuli ow'amaaso,owomugongo,owobusomyo n'amagumba (neurogical) n'abakugu abalala ne bazuula ng'edwadde ze yeetaaga obujjanjabi obwamangu ssinga takolwako ayolekedde okufa.

Lukwago agambye nti e Mulago yamalayo wiki nnamba abakugu ne balagira nti tebalina busobozi kumujjanjaba era Dr Rosemary Byanyima akukira eddwliro lye Mulago mu bbaluwa gyeyawandiise yagambye nti baazudde nga Lukwago alina enddwadde enzibu ttaano ezimutawaanya nga ssinga tafuna bujjanjabi obwamangu obulamu bwe buli matigga.

 Ekyobulwadde ku mawugwe ,atawanyizza okussa ng'era baamulagidde okubeera mu kifo ekiyingizza empewo obulungi.

Abakugu baalagidde Lukwago yeekebejjebwe ebyuma ebyamutekwamu mu bakugu be e India nti era bo tebasobodde kumwekeneenya kubanga baabadde teebekakasa nkola yebyuma ebyamutekebwamu ngera bwebamukedde baazudde ngalimu akuuna Ka Disk akaamutekebwamu kebatasobola kwetantala.

Abamu ku bannamateeka ba lukwago nga bali ku kkooti

Abamu ku bannamateeka ba lukwago nga bali ku kkooti


 
Agambye nti era baamuwadde eddagala okumukakkanya ku bulumi Kyokka baamuwadde ekika kirala kukyabadde akozesa ngate baamugambye liyinza okufuuka eryobulabe ssinga alwawo ngalikozesa.

Alombojjedde kkooti nti tafuna ku mpeke yatulo olw'embeera yobulumi ngate talina pillow ekusobozesa kwebaka bulungi gyeyalina abamakomera bagyonoona , kyokka baatutte ebipimo bya pillow gyasobola okukozesa nga bamusuubizza nti ejja kumutuukako wabula ebbanga talimanyi weenajjira kubanga eva bweru waggwanga.

Abakugu era baazudde nti Alina haniya wansi mu kabutobuto nga mulimu gaasi mungi era ssinga tafuna bujjanjabi ajja kufuna kkansa wemimiro nga talina kwebaka flat ku mufaliso ogwa orthopedic wabula yeewetamu ggaasi oyo aleme kwambuka waggulu ngera haniya oyo yeetaga kulongoosa era mu kiseera kino baamulagidde ebika byemmere byalina okulya kyokka byakiseera kubanga yeetaga okulongoosebwa.

Era baalagidde nti Alina okusigala ku ddagala lye erya puleesa kyokka kyabulabe okumira eddagala eryo mu mbeera gyalimu kati nga ssinga tayambibwa kuva mu kkomera babeera bamuwaddeyo afe.

Yeegayiridde omulamuzi nti wadde akimanyi waakufa naye tayagala afiire mu mbeera gyendisobodde okutaasa.

Oludda oluwaabi lugambye nti omusango gwali gwongezeddwa okuwulira okunonyereza wekutuuse era bakyagenda maaso nokunonyereza nolwekyo naye omulamuzi bataliiwo basabye omusango guweebwe obudde obulala kyokka Ssegona asabye baweebwe olwenkya Ku Lwokusatu omulamuzi awulira omusango guno ssinga waali.

Ssegona era asabye omulamuzi Aisha Nanjala abaddewo Ku Ann Sarah Basemera  kkooti eragire pillow gyebajje ku Lukwago bagiwe abafamire ye ate nabamakomera baweebwe ebiragiro baleme kuzanyira ku bulamu bwamuntu.

Omulamuzi Nanjala abawadde  16 July nga lwelwamuwereddwa kyokka awabudde balooya okugenda enkya basisinkane Omulamuzi Basemera abalungamye  ku kiddako.

Tags: