Amawulire

Ab’e Bukasa - Sentema - Kakiri bawonye enfuufu

OLUGUUDO lwa Bukasa-Sentema-Kakiri oluwezaako kiromita 12.17km lutandise okuyiibwa koolaasi.

Ab’e Bukasa - Sentema - Kakiri bawonye enfuufu
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

OLUGUUDO lwa Bukasa-Sentema-Kakiri oluwezaako kiromita 12.17km lutandise okuyiibwa koolaasi.

 

Oluguudo luno lwatongozebwa Pulezidenti Museveni bwe yali alambula abafunye mu ssente za PDM mu Wakiso mu July wa 2025, nga lwe lumu ku ziri mu nteekateeka ya Greater Kampala and Metropolitan Area nga lwakwasibwa kkampuni y’Abachina eya China International Construction Company okulukola mu mwaka gumu n’ekitundu ku buwumbi 56.

 

Abatuuze n’abakozesa oluguudo luno basanyufu olw’enkulaakulana gye batandise okulabako ne bagamba nti lwakuyamba okutumbula ebyobusuubuzi mu kitundu.

 


Ssentebe wa NRM mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka, oluguudo luno we luyita, Aaron Ndyanabo yategeezezza nti abantu abaafuna ssente za PDM bagenda kuganyulwa mu ssente ezaabaweebwa nga batunda ebintu okumpi n’ekkubo lino.

 

 

Ndyanabo yategeezezza nti abasuubuzi bangi babadde batawaanyizibwa okutambuza emmaali yaabwe okugitwala mu butale e Kampala, nti kyokka oluvannyuma lw’okukola oluguudo luno bagenda kufunamu nnyo.

 

“Omusuubuzi abadde atundira e Kampala, tekigenda kuddamu kumutwalayo kuba ekkubo engeri gye likoleddwaamu, agenda kuba asobola okukolera eno nga tatambudde ng’endo.” Ndyanabo bwe yagambye.

 

Ye Aisha Nakawooya ng’atunda byakulya okumpi n’oluguudo luno, yategeezezza nti enfuufu ebadde yamutwalako bakasitoma abamu nga bagamba nti byatunda bicaafu nnyo, kyokka nti oluvannyuma lw’okuyiwa koolaasi asuubira bakasitoma bagenda kweyongera.

 

Yayongeddeko nti akalippagano k’ebidduka akabadde kabakwatira mu kibuga tebagenda kuddamu kukalabako kuba oluguudo luno luviira ddala Masanafu nga ababadde bayita e Nansana ne bagwa e Wakiso tebajja kuddamu kukozesa luguudo olwo.

 

Yinginiya Nasil Seguya okuva ku disitulikiti e Wakiso nga ye yakwasibwa ogw’okulondoola ebikolebwa ku luguudo luno yategeezezza nti basanyufu olwa sipiidi abaakwasibwa omulimu guno gye bakozesa era basuubira lujja kuggwa mu November w’omwaka guno, olwo Pulezidenti Museveni addeyo okuluggulawo.

Tags:
Amawulire
Ssentema
Mawulire