OLUGUUDO Pulezidenti Museveni lweyatongoza okukola mu Wakiso batandise okuluyiwa kkolaasi ekisanyudde abatuuze ne bagamba nti bizinensi zaabwe zakweyongera okuyitimuka n’abasuubuzi okufunamu.
Museveni bweyali alambula abafunye mu ssente za PDM mu Wakiso mu July wa 2025, yatongoza omulimu gw’okukola n’okuyiwa kkolaasi ku luguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri oluwezaako 12.17km.

Kkolaasi ali mukuyibwa ku luguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri
Oluguudo luno lukolebwa wansi w’enteekateeka ya Greater Kampala and Metropolitan Area nga lwakwasibwa kkampuni yabachina eya China International Construction Company okulukola mu mwaka gumu n’ekitundu ku buwumbi 56.
Abatuuze ssaako abakozesa ekkubo lino, basanyufu nnyo olw’enkulakulana gyebatandise okulabako kye bagambye nti egenda kuyamba akozesa ekkubo lino neyazimba okumpi nalyo olwo eby’obusuubuzi byeyongere.
Ndyanabo yategeezezza nti abasuubuzi bangi babadde batawanyizibwa okutambuza emmaali yaabwe okugitwala mu butale e Kampala, nti kyokka oluvannyuma lw’okukola ekkubo lino, bagenda kufunamu nnyo.

Kkolaasi ali mukuyibwa ku luguudo lwa Bukasa-Sentema-Kakiri
“Omusuubuzi abadde atundira e Kampala, tekigenda kuddamu kumutwalayo kuba ekkubo engeri gye likoleddwamu, agenda kuba asobola okukolera eno nga tatambudde ngendo. Oluusi ebintu byabwe bibadde bifa olw’ekkubo okuba ebbi ekibadde kitta n’emmotoka.”
Ndyanabo bweyayongeddeko.
Ye Aisha Nakawooya nga atunda byakulya okumpi n’oluguudo luno, yategezezza nti enfuufu ebadde yamutwalako bakasitoma abamu nga bagamba nti byatunda bikyafu nnyo, kyokka nti oluvannyuma lw’okutekako kkolaasi asuubira bakasitoma bagenda kweyongera.
Yayongedde n'ategeeza nti akalippagano k’ebidduka akabadde kabakwatira mu kibuga tebagenda kuddamu kukalabako kuba oluguudo luno luviira ddala Masanafu nga ababadde bayita e Nansana nebagwa e akiso tebajja kuddamu kukozesa kkubo eryo.

Aron Ndyanabo ssentebe wa NRM mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka.
Yinginiya Nasil Seguya okuva ku disitulikiti e Wakiso nga yeyakwasibwa okulondoola ebikolebwa ku luguudo luno yategezezza nti baasoose kuyiwa kkolaasi ow’okugezesa balabe oba ddala anaawangaala okusinziira kunkula y’ettaka webamuyiwa.
Yagambye nti ebiseera bingi enguudo ez’enjawulo zikoleddwa kyokka ne zitawangaala, nga kino kivudde ku butagezesa kkolaasi ku ttaka lye bakola olwo abatuuze nebatandika okugamba nti ssente zaalibwa.
Seguya yagambye nti basanyufu olwa sipiidi abaakwasibwa omulimu guno gyebakozesa era basuubira oluguudo luno okukomekkerezebwa mu November w’omwaka guno, olwo Pulezidenti Museveni addeyo okuluggulawo mubutongole