ABAKADDE basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lwa babbulooka ba kkooti okubakasukira ebintu byabwe ebweru, enju mwe babadde basula ne bagisibako ekkufulu.
Resitetuta Nantumbwe 60, ne bba Edward Mutagubya abatuuze b'e Vuunza mu Kagologolo Town Council mu disitulikiti y'e Bukomansimbi bagamba, baalabidde awo, bakanyama nga bawerekeddwaako abaserikale ba poliisi nga bakasuka ebintu byabwe wabweru era kati basula wansi wa muti.
Bano balumirizza Kalema okubeera emabega w'ekikolwa kino n'ekigendererwa eky'okubabbako ekibanja kyabwe kwe bawangaalidde emyaka n'ebisiibo.
Abakadde bano bagamba nti, ekibanja ekivuddeko embeteza kyabaweebwa kitaabwe omugenzi Busuulwa ng'akyali mulamu era nga kwe bazaalidde abaana n'okulera abazzukulu.
Bagamba nti, Kalema yali mupakasi wa kitaabwe kyokka kitaabwe olwafa, Kalema yeekobaana ne ssentebe w'ekyalo Vuunza, Mbalirwa ne babaliisa akakanja.
Baategeezezza nti, baludde nga beekubira enduulu mu boobuyinza wabula nga tebayambibwa.
Bawanjagidde Pulezidenti Museveni abataase ku Kalema gwe bagamba nti, abafuukidde akayinja mu ngatto.
Abatuuze mu kitundu kino bavumiridde ekikolwa ekyakoleddwa ku bakadde ne basaba Gavumenti okusitukiramu ebayambe kubanga obulamu bwabwe buli mu matigga.
Kyokka ssentebe Mbalirwa yeegaanye ebimwogerwako n'agamba bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.
Mmeeya wa Kagologolo town council, Alex Ssekigudde obuzibu ku nkaayana z'ettaka yabutadde ku kitongole eky'essiga eddamuzi olw'okusala emisango gy'ettaka nga tekimaze kuzuula bannannyini ttaka abatuufu.
Wabula Kalema yasoose kutegeeza nga bw'atalina ky'amanyi ku nsonga eno, kyokka olumaze yeetemye engalike nti, akolera ku biragiro bya nnannyini ttaka, ekyatabudde abatuuze ne bamwambalira okukkakkana nga bawaanyisiganyizza ebisongovu.
Kalema baamusabye okuggulira abakadde bano bafune we basula wabula ne yeerema