Amawulire

Obwakabaka bwa Buganda bufunye ensimbi za GROW obuwumbi butaano

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza enkola y’okugabira ebibiina by’abakyala mu Buganda ensimbi z’okwekulaakulanya eziri mu nteekateeka ya GROW.

Dr. Ruth Biyinzika ng'akwasa Katikkiro Mayiga ceeke ya buwumbi butaano ezigenda okukozesebwa Abakyala mu Buganda okwekulakulanya
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza enkola y’okugabira ebibiina by’abakyala mu Buganda ensimbi z’okwekulaakulanya eziri mu nteekateeka ya GROW.

Omukolo guno gubadde ku mbuga y’eggombolola y’e Kibibi esangibwa mu kabuga k’e Kibibi mu ssaza ly’e Butambala n’asaba abakyala obutakkirizza ssente zibawereddwa mu kwekulakulanya ate kutwalibwa baami baabwe.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera

Katikkiro Mayiga ng'ayogera


" Bwemufuna ssente mulina okuzizzaayo. Okusobola kino, temukkiriza basajja bamwe ate kuzibatwalako nti balina enteekateeka zebaagala mukole. Bwebazibasaba mubagambe nti ssente si zammwe wabula zikola mirimu  kyokka bwobeera ofunyeeyo ku magoba, tekikugaana Omwami okumugulirayo ku saati, ettaayi oba ekirabo kyonna ekyo kijja kubasanyusa era babawagire," Mayiga bwawabudde abakyala.
Hajj Amisi Kakomo abuulidde abakyala nti ssente zino ezigenda okubaweebwa si zakulya wabula okukozesebwa okusitula embeera zaabwe n’atenderezza ab’ekitongole kya Private Sector Foundation Uganda olw’okuvaayo okusakira abakyala ba Buganda.

Omukwanaganya w’ensimbi za GROW mu psf, Dr. Ruth Aisha Biyinzika Kasolo yeebazizza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okutambuza obulungi Obwakabaka saako n’okukkiriza enteekateeka eyingizibwe mu bibiina by’Obwakabaka nga Pewosa n’agamba nti wakwongera okusaka ensimbi okugasa abantu ba Buganda.

Dr. Biyinzika ng'aliko akaama kaakuba Katikkiro Mayiga

Dr. Biyinzika ng'aliko akaama kaakuba Katikkiro Mayiga


Ekitongole kya Psfu kiwadde Obwakabaka ensimbi obuwumbi butaano okuyita mu kitongole kya Kyadondo CBS Pewosa okuzigabira ebibiina by'abakyala mu Buganda okwekulakulanya.

Kawooya Mwebe akulira ekitongole kino ekya Kyadondo Pewosa Sacco agambye nti ensimbi zino baatandise okuzigabira abakyala abaagala  okukola emirimu era n'awa essuubi nti bwezinagwawo balina obwesige nti aba Psfu bakuddamu  okubawa endala.

Omwami w’essaza ly’e Butambala, Katamba Hajj Sulaiman Magala yeebazizza Obwakabaka okuteekanga enteekateeka z’enkulakulana wansi mu masaza gyeziteekebwa mu nkola n’akunga Bannabutambala okwongera okweteekateeka okujjaguza amatikkira ag’omulundi ogwa 33.
Ssente zino zakugabirwa disitulikiti 19 mu Buganda era zakuweebwa abakyala abalina bizinensi zebakoze okuli eby’obulimi n’obulunzi, obusuubuzi, eby’obulambuzi n’ebirala.

Tags: