Ebyentambula bisannyaladde ku nguudo ez’enjawulo mu diviizoni y’e Nansana abaagala obwa ssentebe bw’ebyalo bwe babadde beewandiisa nga buli omu afubye okulaga nti y’alina amaanyi n’obuwagizi, ekisannyalazza emirimu mu bitundu omuli Kazo, Nabweru ne Nansana.

Ssempagama Yusuf Ng'asituddwa.
Ye Ssempagama Yusuf Kaye ng’avuganya ku bwassentebe bwa Nabweru South cell 2 wakati mu bawagizi be ategeezezza nga bw’azze okugogola obukulembeeze bw’ekyalo ky’agamba nti abatuuze tebaganyuddwa mu bukulembeze buliwo kwe kwesowolayo anunule ekyalo.

Kigozi Owa Kazo Muganzirwaza
Ate Kizito James, owa Lugoba 2 ategeezezza nga bw’akomyewo okuweebwa ekisanja ayongere okutuusa empeereza eri abatuuze.
Ismail Kigozi owa Kazo muganzirwazza acamudde abantu bw’atemye ddansi wakati mu vayibu nga bamusitudde okumwetoolooza ekyalo n’ajjukiza abatuuze nti yekka y’alina obumanyirivu okukuuma ekyalo kyabwe mu mirembe.

James Kizito Owa Lugoba II Ng'asunsulwa.