MINISITA w’ebyobulamu, Dr. Chris Baryomunsi asambazze ebigambibwa nti waliwo ekika ky’omusujja omupya ekitandisse okutta abayizi.
Kiddiridde abayizi mu masomero ag’enjawulo okufa mu ngeri eyatadde Bannayuganda ku bunkenke nga kigambibwa nti baafudde musujja gwa nsiri.
Minisita Baryomunsi yasinzidde mu lutuula lwa Palamenti eggulo ku Lwokusatu n'atangaaza nti abayizi abaafa omusujja bali 4, kuliko aba Makerere College babiri, Mengo Secondary School omu n'omulala yali wa asima ku Gayaza High School.
Yagambye nti, omuyizi owa Ndejje Secondary School yafa kwennyika mu birowoozo ate owa Kakiri S.S ne Katakwi S.S baafa byekuusa ku bubenje.
Okunoonyereza yagambye kwazudde nti, wadde abayizi bana baafa omusujja ogw'amaanyi ogwabalumba, naye kyava ku kuba nga bava mu bitundu ebitatera kulumbibwa musujja ekyaviirako emibiri gyabwe okusanga akaseera akazibu okwerwanako.
Baryomunsi yagambye, ekitongole ekimaze ebbanga nga kinoonyereza ku kawuka akaleeta omusujja ekya National Malaria Control Division kibadde tekinnazuula kawuka kapya akaleeta omusujja nga akabadde kalumba abantu bulijjo ke kakyaliwo.
Abaana abawangaalira mu bitundu ebitatera kulumbibwa musujja gwa nsiri naddala ebiri mu Kampala n’emiriraano, ssaako e Kigezi yagambye, omusujja bwe gubakwata gubakoseza ddala ekitali ku abo abali mu bitundu omusujja gye gusinga okwegiriisiza.
Yannyonnyodde nti, omwana ekika kino, omusujja bwe gumukwata mu ssaawa 24, mu ssaawa eziddako 2 aba yafudde dda ssinga aba tafunye bujjanjabi mangu naddala nga asangiddwa nga endya ye ebadde mbi ate nga alina ne ‘alaje’.
Baryomunsi yalambuludde nti, Gavumenti ezze efuba okulwanyisa omusujja gw’ensiri okumala emyaka 20 egiyise mu ngeri ez’enjawulo nga okubiriza abantu okusula mu butimba bw’ensiri n’enkola endala.
Yanokoddeyo ensonga endala ze yayise ez’enkizo era Bannayuganda ze batasaanye kubuusa maaso eziviirako ensiri okubeezingako ne zibalwaza omusujja. Yagambye nti ebimu ku bisikiriza ensiri gwe mwenge nti, buli lwe ziwunyiriza we guli, nga zisembera kubanga gulimu ekirungo kye zaagala.
Ebbugumu eringi nalyo lisikiriza ensiri era buli omubiri lwe gubeera n'ebbugumu eringi ensiri zigweyuna. Ekirala ekizisikiriza kwe kutuuyana, ssaako abakazi abali embuto nabo zibettanira y'ensonga lwaki abasawo bakubiriza abakazi b'embuto okusula wansi w'akatimba k'ensiri.
Mu kiseera kino, minisitule y’ebyobulamu yasisinkanye ey'ebyenjigiriza ne basalawo okutandika okukebera abayizi bonna omusujja gw’ensiri nga baakutandikira mu masomero 4 agaafiirwa abayizi.
Amasomero gonna okwetooloola eggwanga gaakuweebwa ekiwandiiko ekirung'amya ku ngeri bwe bayinza okwekuuma omusujja gw’ensiri. Baakukola okunoonyereza ku byobulamu bwe biyimiridde mu masomero naddala mu disitulikiti ezinaaba zeekengeddwa.
Ku buli ntandikwa y’olusoma, buli muyizi ajja kwetaagibwa okwekebejjebwa abasawo era atwale ebbaluwa ku ssomero. Baakufuba okulaba nga ebifo awajjanjabirwa abayizi bikola bulungi era nga n’abasawo weebali