Amawulire

Abagambibwa okubba emmwaanyi mu misiri gy'abantu ne mu mpya bakwatiddwa

ABANTU abasoba mu 8 abagambibwa okwenyigira mu kubba emmwaanyi ku misiri ne mu luggya lw'abantu e Mityana, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Abagambibwa okubba emmwaanyi mu misiri gy'abantu ne mu mpya bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU abasoba mu 8 abagambibwa okwenyigira mu kubba emmwaanyi ku misiri ne mu luggya lw'abantu e Mityana, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Kino kiddiridde okubba emmwaanyi za John Ssemugomba 62 ow'e Kiwujja Buyambi LC1 mu muluka gw'e Nalumbugu mu ggombolola y'e Bulera e Mityana, era nga kigambibwa nti mu ggombolola eyo , obubbi mwe businze.

Mu kikwekweto kino, Edward Kizito 28 ne Bernard Lubowa 30 abatuuze b'e Kiwujja ne Kibogo , bakwatiddwa era nga kigambibwa nti  basangiddwa n'ezimu ku mmwanyi enzibe.

Abalala abaakwatiddwa, kuliko Ssalongo Abdul Semakula 58, Vincent Malunda 20, Stephen Kakooza 21, Aidah Nakigozi 58, Edwin Kibirige 19.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti ebikwekweto bino , bikoleddwa wakati w'omwezi gwa June ne July ne bakwata abagambibwa okuzibba n'okuzigula era nga waliwo n'ezimu ezizuuliddwa.

Tags:
Bantu
Kusoba
8
Kukola