Poliisi y'ebidduka ekutte baddereeva ba bbaasi babiri abagambibwa okutikka abaana akabindo.
Omulala ye Abubakar Muteesaasira ng'abadde avuga bbaasi nnamba UAN 619 X ng'ono kigambibwa abadde atisse abayizi 97.
Bbaasi zombi, bazikwatidde ku Golf Course mu Kampala mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi y'ebidduka okulwanyisa obubenje naddala obwa bbaasi obuzze bufiiramu abayizi n'abantu abakulu.
Akakyasembyeyo kaaguddewo eggulo e Kapchorwa, bbaasi omwabadde abayizi ba King David Junior School e Ndejje, bwe yatomedde ejjinja ne yeefuula n'etta abayizi 20 ne dayirekita w'essomero, abalala ne bagendera ku bisago.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti bagguddwako emisango egy'enjawulo.