Amawulire

OKUWANDIISA ba ssentebe b’ebyalo mu mu muluka gw’e Mutundwe kutambudde bulungi

OKUWANDIISA ba ssentebe b’ebyalo mu mu muluka gw’e Mutundwe kutambudde bulungi

Ssalongo Nkwanga Gaggawala nga bamuwerekera okwewandiisa
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

OKUWANDIISA ba ssentebe b’ebyalo mu mu muluka gw’e Mutundwe kutambudde bulungi era bakira abajja beebewandiisa nebabulawo kuba tebadde nyo mujjuzo, eno okuwandiisa kubadde ku ssomero lya Mutundwe C.O.U.

wano ngateeka omukono ku biwandiiko mu kwewandiisa

wano ngateeka omukono ku biwandiiko mu kwewandiisa

OMU ku beewandiisizza okuvuganya ku bwa ssentebe bwa zooni ya Kabaawo e Mutunde,  Ssalongop Nkwanga Gaggaggalwala ayuugumizza ekyalo, oluseregende lwa pikipiki  n’emnmotoka wamu  n’abatuuze  abamuwerekeddeko  okutuuka gyeebeewandiisizza.

Eyakuliddemu ebyokuwandiisa ba ssentebe e Mutundwe ng'akwasa ssalongo Gaggawala ebbaluwa emukakasa okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa zooni ya Kabaawo ku kibiina kya NRM

Eyakuliddemu ebyokuwandiisa ba ssentebe e Mutundwe ng'akwasa ssalongo Gaggawala ebbaluwa emukakasa okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa zooni ya Kabaawo ku kibiina kya NRM

Bagenze bakuba emizira, okuzina amazina n’okufuuwa engombe okulaga obuwagizi eri omuntu waabwe, nga bwebawera nti kuluno mukama abajjukidde nabaleetera omuntu omutuufu  nti era bonna bali mabega we.
Ono olumaze okwewandiisa naawewra nti, ayagala okuleetawo obutebenkevu mu kitundu kuba bubadde bunafu nyo ngeby’okwerinda bibi, okwongera obuyonjo ng’ategekawo enkola ya bulungi bwansi,  kubanga zooni ya Kabaawo  yeemu ku zooni ezisingamu abantu abangi mu muluka gw’e Mutundwe,  nti kale obuyonjo bwetaaga okuteekamu amaanyi ssaako ensonga z’obutebenkevu,  baleme okukwata abatuuze nga babaggalira oluusi mu nsonga ezitabavunaanyizbwako.

Abamu ku bawagzi ba Nkwanga nga basala omuziki

Abamu ku bawagzi ba Nkwanga nga basala omuziki

Asabye ba nna Kabkaaawo bonna okusimba emabega ku lunaku lw’okulonda nga July 28, 2026, baakyuse ekitundu kyabwe nga bafuna omuweereza omupya ajjudde ebinnonnoggo ebitebenkeza ekitundu kyabwe, nga ssimulala okuleka ye Ssalongo Gaggawala.
Eno ne Hassan Kizza naye yeewandisiizza ku bwa ssentebe bwa zooni ya Kitawuluzi e Mutundwe naye naawera okukolera abantu.
Tags: