POLIISI e Kiboga, eyigga omusomesa agambibwa okukuba omuyizi wa siniya eyookubiri omuyini gw'enkumbi n'azirika, ng'amulanga buutakuba kikalu.
Kitegeezeddwa nti omuyizi , yagenze ew’omusomesa ng'ayagala amukkirize afulume ebweru akime ssente z'okukozesa nti omusomesa kwe kumulagira asooke akube ekikalu era n'oluvannyuma n'amugaana okufuluma.
Omuyizi ono nga mutuuze w'e Kyato mu muluka gw'e Kasega mu ggombolola y'e Kapeke e Kiboga, kigambibwa nti mu kuddayo mu kibiina, ekikalu , yakiggyeeyo , nti omusomesa kwe kumulumba n'amukuba n'agwa wansi, abayizi ne bakuba enduulu ng'azirise kyokka ne basobola okumwongerayo mu ddwaaliro.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lameck Kigozi, agambye nti Sserwadda , yadduse era bamuyigga olw'okutuusa ebisago ku muyizi, ekintu ekitakkirizibwa.