OMUSAJJA agambibwa okubba embuzi, abatuuze ababadde abakambwe, bamukakkanyeeko ne bamukuba ne bamutta wakati mu kulaajana.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bayigga abo bonna abali emabega w'ettemu lino.
Ate omukozi w'awaka Wycliffe Wambete agambibwa okubba ente ya mukama we e Lubya Buleete cell e Kasanje , naye bamukutte era n'ente ne bagizuula.