Amawulire

Abaffamire ya makanika eyafudde n’abaana b'essomero si bamativu

MAKANIKA wa bbaasi omwafiiridde abayizi ba King David Junior School, Emmanuel Lubega, abaffamire ye bakukkuluma olw’omuntu waabwe obutayogerwako ng’omu ku baafiiridde mu kabenje. 

Abaffamire ya makanika eyafudde n’abaana b'essomero si bamativu
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

MAKANIKA wa bbaasi omwafiiridde abayizi ba King David Junior School, Emmanuel Lubega, abaffamire ye bakukkuluma olw’omuntu waabwe obutayogerwako ng’omu ku baafiiridde mu kabenje. 

Lubega yalese Namwandu n’abaana babiri. Jjajja w’omugenzi, Ruth Namuddu yagambye nti, okuva akabenje lwe kaagwawo, baasiitaanye okumanya ebifa ku mwana waabwe.

Yategeezezza nti kino kyabadde bwekityo kubanga buli eyabadde ayogera nga tamwogerako, era taba kuba nga yababuulirako ng’agenda, babadde bajja kulwawo okumanya.

Tags:
Ssomero
Makanika
Kapchorwa
King David Jr School
Ssekadde