OKUWULIRA omusango gw'okutta eyali amyuka Ssaabawaabi w'emisango gya Gavumenti, Joan Kagezi kyazzeemu ebiwuniikiriza, omusibe bwe yakawang'amudde n'alumiriza eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayuhira okuba n'akakwate ku ttemu eryo.
Nasur Abudallah Mugonole yabadde yeewozaako mu kkooti ewulira emisango egiri ku mutendera gw'ensi yonna n'abuulira kkooti engeri gye baalukangamu ddiiru. Yabadde akulembeddwa munnamateeka waabwe Elizabeth Nampola. Oluvannyuma Richard Birivumbuka okuva ku ludda oluwaabi yamusoyezza ebibuuzo.
Abasasi baffe EDWARD LUYIMBAAZI ne MARGRET ZALWANGO abaabadde mu kkooti bakuleetedde kigambo ku kigambo nga Mugonole akawang'ammula: Birivumbuka: Wazaalibwa wa?
Mugonole: Bugembe
Birivumbuka: Wasoma kwenkana
wa?
Mugonole: Nakoma mu P.6
Birivumbuka: e Kayunga wagendayo
ddi?
Mugonole: Mu 1986 maama wange ye yantwalayo
Birivumbuka: maama yo yani?
Mugonole: Florence Hadijah
Namubiru
Birivumbuka: Bwe ng'amba
Kibuuka kkojjaawo mbeera mutuufu:
Mugonole: kituufu ekyo
Birivumbuka : Olina oluganda ku
Jamir Mukulu?
Mugonole: Nedda
Birivumbuka : Kibuuka mwakula
mwenna?
Mugonole :Mmumanyi kuva buto.
Birivumbuka : ate Kisekka?
Mugonole : Mmumanyi yali abeera
Nsanvu e Kayunga
Birivumbuka : ate Masajage?
Mugonole : Nateranga okumulaba
e Kitimbwa
Birivumbuka : Wajja ddi e Kampala?
Mugonole : Mu 1999.
Birivumbuka : wali obeera wa?
Mugonole : ku Mambule Road e
Kaleerwe.
Birivumbuka : Wali okozeeko ne
Kisekka?
Mugonole : Nakolako naye mu
bbeekeeri ng’akola mu Minana
Bakery ng’ate nze nkola mu Kiddu
Bakery.
Birivumbuka ? Bbeekeeri yali ya
Minana?
Mugonole: simanyi.
Birvumbuka : ate Masajage
Mugonole: Yali akola mu Smart
Bakery
Birivumbuka : Ate Kibuuka
Mugonole : Yali mu Smart Bekery.
Birivumbuka : Wabeerako ne
Kisekka?
Mugonole : Nabeera naye okumala
emyezi e Kanyanya ate Kibuuka
yali abeera Kyebando Central ne
Masajage.
Birivumbuka : Wagambye Kisekka
yaleeta ddi emmundu?
Mugonole : Yaleeta emmundu
bbiri nga June 24, 2007.
Birivumbuka : Wali omanyi
gy'akola?
Mugonole : Nali simanyi naye yali
akolera mu magye nga simanyi
bbaalakisi mwe yali.
Birivumbuka : mpozzi yajja ne
magaziini mmeka?
Mugonole: Yajja n'emmundu bbiri
nga ziriko ne magaziini zaazo ne
magaziini endala mbiri.
Birivumbuka : Mwenyigira mu
bunyazi bwa mirundi emeka ne
Kisekka?
Mugonole: Nabba naye omulundi
gumu e Bwaise gye twabba SACCO
y'abakyala.
Birivumbuka : Mwatambula
mutya?
Mugonole : Twakozesa boda boda
yange n'emmundu ya Kisekka.
Birivumbuka : Mwabbako ne
Masagge?
Mugonole : Sibbangako naye.
Baatukwata ne batusibira e Kireka
Birivumbuka: Eyo gye mwasisinkana
Nixon?
Mugonole : Kiseka ye yampanga
ebikwata ku Nixon
Birivumbuka: ate Minana?
Mugonole: Sijjukira kumusisinkana
naye Green ye yang'amba tuli mu
kabinja ke kamu era gwe twetaaga.
Birivumbuka : Mpozzi wagambye
Green y'ani?
Mugonole : Ye Sikodi Green naye
amatuufu ye Sharif Zziwa
Birivumbuka : Mpozzi oyo ali
ludda wa?
Mugonole: Baamusiba ali Luzira.
Birivumbuka : Ku misango ki?
Mugonole : Egy'okukwata abakazi
Birivumbuka : Baakusibako?
Mugonole : Baatutwala mu kkooti
y'amagye n'etusingisa egy'okubba
SACCO ne bansiba emyaka 6.
Birivumbuka : Ate Kibuuka?
Mugonole: Baamuggulako gwa kusangibwa
n'emmundu mu bumenyi bw'amateeka Omulamuzi: nga muli ku ffayiro emu?
Mugonole : twali ku fayiro emu naye ng'emisango gya njawulo. Twaliko era ne Masajjage. Nga tuli mu kkomera e Makindye Kisekka yang'amba waliwo omulimu ne mmubuuza gwakukola ki era ani atusasula. Yanziramu nti Kayihura ye bboosi. Omulimu gwali gwa kukola bulumbaganyi ku ggwanga okutega bbomu, okutta abantu be tutakkaanya nabo, n'abo abatuvuddemu nga bategedde bye tukola.
Birivumbuka : Kayihura yali akozesa
bantu ki ?
Mugonole : Bangi b'akozesa era ne
mu kiseera kino weebali
Birivumbuka: bantu ki abo?
Mugonole : Kuliko Jeje
Odong.
Birivumbuka : wali olipootinga w'ani?
Mugonole : Bwe natuuka mu kkomera e Kigo nagamba Green ku mulimu
gwe yampa. Gwali gwa kuketta Kisekka by'akola n'abantu be yali akola nabo.
Birivumbuka : Bantu
ki abo?
Mugonole: Gen Hamza
Kagame, Muhanguzi David ne Kayanja owa
Wembly essaawa eno ye Gen. Kayanja n'abalala.
Birivumbuka: Ffayiro ki gye mwali mwagalirako Kagezi?
Mugonole: Yakola ku ffayiro nnyigi naye waliwo gye yafuna nga May 22, 2003 ng'ekwata ku bulumbaganyi obwakolebwa Kayihuranga bukwata ku bbomu ezaategebwa e Nateete n'okuleeta emmundu mu Uganda mu bumenyi bw'amateeka.
Yafuna ne ffayiro endala nga July 9, 2006 kw'ebyo Kayihura bye yali akoze. Kagezi yali ayagala Pulezidenti azimanyeeko.
Birivumbuka : Kayihura yasisinkanako
ku Kagezi?
Mugonole : Yamusisinkana mu makaage n'amusuubiza akawumbi kamu okusirikira fayiro naye Kagezi n'agaana.
Birivumbuka : Mpozzi wagambye essimu ya Kagezi baagibba?
Mugonole: yeee essimu ya kagezi yabbibwa era Calvin Jordan yeeyagibba nga yali mujaasi mu magye nga yali muganzi wa muwala wa Kagezi naye nga yali ateekeddwawo kulondoola Kagezi ng'akwana muwala we.
Mulamuzi: Tunnyonnyole muwala ki gwogamba
Mugonole: ntegeeza omwana we oba Daughter
Birivumbuka : byaliwo ddi ebyo?
Mugoole :wakati wa 2010 ppaka lwe yafa.
Birivumbuka : Essimu zaalaga
wa?
Mugonole: essimu yatwalibwa ewa Nixon oluvannyuma eyagitwala ewa Kayihura e Ntinda. Essimu baagitwala ewa Francis n'agiteekamu akuuma akalondoola. Francis kati ali ku ddaala lya Lieutenant.
Birivumbuka : Kiki ekyatuuka ku
Kirumira ne Kaweesi?
Mugonole: baafa. Kirumira yafa ne Kaweesi era baafa masasi.
Birivumbuka : essimu yalagawa?
Mugonole : Oluvannyuma lw'ennaku bbiri baagizzaayo mu maka ga Kagezi.
Birivumbuka : mpozzi walipotinga nga wa?
Mugonole: nalipotinga nga wa Green olwo Green n'abitwala ku CPS mu kisenge 11 era kikyaliwo.
Birivumbuka : wayogedde ku ky'okuttibwa kwa Kagezi ? Mugonole : Kagezi yali waakuttibwa nga March 28, 2015 era namanyako nti bagenda kutta Kagezi
naye nze saakiriimu.
Birivumbuka : ani yatta Kagezi?
Mugonole : Ye Hamza Kakaire, muserikale wa poliisi era atambula nnyo.
Birivumbuka : Kiki ekyatuuka ku
boda boda ennya ze mwalina?
Mugonole : Mukasa akanika piki ku Muganzilwazza yatwalako emu, endala Kyagera ye yagitwala, endala Kiryangente ow'oku Quality Chemicals nga yali akolera Kayihura, endala Hamis.
Birivumbuka: Wali osisinkanyeko
ku Minana?
Mugonole : Nedda simusisinkanangako
Birivubuka : ssente za SACCO
mwabba mmeka?
Mugonole: Kiseka y'amanyi
Birvumbuka : Mugonole weetaba
mu kutta Kagezi?
Mugonole : seetaba mu kutta
Kagezi nze nnali nondoola Kiseka.
Omulamuzi : watugambye weetaba mu bubbi bwamirundi ebiri , ate kati ogamba waaketaba mu gumu.
Mugonole: neetaba mu kubba SACCO e Bwaise n'obubbi obulala obwa SACCO e Buikwe.
Birivumbuka : wamanya otya ebya tulaaka? Mugonole : tulina abakugu abateekamu tulaaka. tulaaka za Kirumira n'eya Kaweesi zaali zanjawulo nga zateekebamu Lt Francis akola ne Kayihura.
Birivumbuka : Baali bakutendeseeko
okukozesa emmundu? Mugonole : Nedda. Naye mu bubbi twakozesa mmundu ya Kiseka AK- 47 gye twabbisa e Bwaise.
Birivumbuka : Wali osseeko ku muntu?
Mugonole : sittangako ku muntu
Biriumbuka : baakukwata ddi?
Mugonole ; bankwata 2016.
Omulamuzi : omanya otya ebyo
byonna n'ebiriwo ng'ate oli mu
kkomera?
Mugonole: nze bwebantuma ku
muntu ne bwemba mu kkomera
nkunoonyerezaako
Omulamuzi