Amawulire

Ebyabadde mu kuziika abayizi abaafudde mu kabenje

Ebyabadde mu kuziika abayizi abaafudde mu kabenje

Omubaka Naluyima n'aba ffamire nga baganzika ekimuli ku mugenzi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ENNYIIKE, amaziga n’ekiyongobero byefuze amaziika g’abaana abaafiira mu kabenje ddekabusa akaalimu abayizi ba King David Junior School, mu nsozi z’e Kapchorwa wiiki ewedde.
Amaziga g’abazadde b’abaana bano, gaaleetedde n’abakungubazi bangi nabo okuyunguka amaziga, nga beefumiitiriza obulumi bazadde b’abaana bwe balimu. Akabenje kano akaagwaawo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro ku kyalo Chekwatit, mu muluka gw’e Kimawa, mu ggombolola y’e Kawowo mu disitulikiti y’e Kapchorwa, kaafiiramu ne dayirekita w’essomero lino Tadeo Ssekadde. Abaana baali bava kulambula biyiriro by’e Sipi, era 21 baakakasibwa nti be baafiira mu kabenje kano.

Ekifo awaagudde akabenje akasse abaana n'abasomesa ba King David e Ndejje. Ekiyinja awali abantu bbaasi kye yatomedde.

Ekifo awaagudde akabenje akasse abaana n'abasomesa ba King David e Ndejje. Ekiyinja awali abantu bbaasi kye yatomedde.


EKYABADDE MU KUZIIKA
Abakungubazi okuva e Kampala, n’ebyalo eby’enjawulo e Bukomansimbi beeyiye mu bungi mu kuziika omwana Martin Solomon Kiyimba 12. Kiyimba muzzukulu w’eyali omubaka wa Makindye – Ssaabagabo Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene, era y’omu ku bantu ab’amaanyi abeetabye mu kuziika. Baamuziise eggulo ku kyalo Kyabiri mu ggombolola y’e Kibinge mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.
Omugenzi abadde mu P7 nga yeetegekera kutuula PLE omwaka guno! Maama we Slyvia Nalumansi Lutwama, wakati mu nnyiike n’okuyunguka amaziga, yasabye abakungubazi okwongera okumusabira kubanga awulira obuzito obw’amaanyi ku mutima.
Mmisa ey’okusabira Kiyimba yakulembeddwa Bwanamukulu w'ekigo ky'e Buyoga, Rev. Fr. Matovu, eyasabye abazadde abaafiiriddwa abaana okwekwata ku Katonda abayise mu kaseera kano akazibu.
Ye Ssajjalyabeene yawanjagidde Gavumenti okwongera amaanyi mu kudduukirira abantu abafuna obubenje n'okwongera omutindo gw'obujjanjabi.
Omwana omulala Amaal Nannyonga Zziwa ng’abadde mu P.7, naye yaziikiddwa ku luguudo oludda e Ddimu ku mwalo ku kyalo Kamulegu mu disitulikiti y’e Kyotera, mu maka g’omugenzi Tomasi Mudde.
Ate Ali Kayi Wasswa eyabaddeko enkalu ng’omulambo gwe gubuze okutuusa lwe gwazuuliddwa nga gwabadde gutwaliddwamu omuzadde omu e Kaliisizo ng’aguyise ogwa mutabani we Ssennyondo B, yaziikiddwa e Mbale ku kyalo Nankusi.
Omu ku booluganda Sylivia Namanda yagambye nti, oluvannyuma lw’okufuna omulambo gwa mutabani we okuva ku baabadde bagututte e Kaliisizo, gwasoose kutuusibwa mu maka ga bakadde be ku kyalo Kirimanyaga e Zzana gye gwasuze olwo ne bagukeeza e Mbale gye baamuziise eggulo.
Yayongeddeko nti eno baatuuseeyo mu kiyongobero eky’amaanyi nga n’abantu abamu baasoose kutya kuziika nga babuusabuusa oba ye mutabani waabwe omutuufu kuba baasoose kubuzaabuzibwa. Oluvannyuma lw’okwekebejja omugenzi, baazudde nti ye waabwe yennyini era n’aziikibwa.
Namanda yagambye nti, ekyasinze okubaluma, omwana ono abadde mugezi nnyo nga bamusuubira okuyitira waggulu mu PLE. Kino era kyakakasiddwa n’omukulu w’essomwero Muzamir Musagala Ssaalongo eyagambye nti abadde amusuubiramu obubonero buna (4) mu P7.

Nnamwandu Prossy Sekadde n'ababakungubazi.

Nnamwandu Prossy Sekadde n'ababakungubazi.


POLIISI EYOGEDDE
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti, ffamire z’abaana abaafiira mu kabenje zaaweereddwa emirambo gy’abaana baabwe, nga kati wasigaddewo omulambo gumu ogukyabuliddwaako bannannyini gwo.
Omulambo guno gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng’okunoonyereza ku bannannyini gwo bwe kugenda mu maaso. Okunoonyereza ku byavaako akabenje kano, Kituuma yagambye nti kukyagenda mu maaso, era bye banaazuula baakubibuulira eggwanga.
Era yagambye nti, okunoonyereza kuno poliisi yakutaddeko ttiimu y’abasirikale abakugu era ne babawa ne bye balina okussaako essira okusobola okuvaayo ne lipooti enzijuvu. Mu kiseera kino amakubo gonna baagataddeko abaserikale nga bali bulindaala okukwata emmotoka yonna eyeetantala okutambuza abayizi nga bajeemera ekiragiro kya Gavumenti.
Kituuma yasabye bannannyini masomero okugondera ekiragiro kya Gavumenti eky’obutatwala baana kulambula, okutuusa nga minisitule ebalagidde okuddamu.
AB’AMASOMERO BAAGALA OKULAMBULA KUDDEMU
Bannannyini masomero ag’obwannannyini abeegattira mu kibiina kyabwe ekya National Private Educational Institutions Association Uganda, baagala Gavumenti eggyewo ekkoligo lye yatadde ku ng'endo z’abayizi ez’okulambula.
Hasadu Kirabira, ssentebe w’ekibiina kino yagambye nti abayizi okulambula kibayamba okwongera okutegeera bye basoma mu kibiina, kibongera obukugu, kitumbula obuyiiya bwabwe, okuvumbula abakulembeze, okwagala ensi yaabwe n’okubateekateeka okuyingira ensi y’emirimu.
Olw’obukulu bw’okulambula, Kirabira yagambye nti Gavumenti essira yeetaaga kuliteeka ku ntambuza y’abayizi ennungi era egoberera amateeka, okusinga okuwera okulambula.
Ab’amasomero Omubaka Naluyima n'aba ffamire nga baganzika ekimuli ku mugenzi.
Ekifo awaagudde akabenje akasse abaana n'abasomesa ba King David e Ndejje. Ekiyinja awali abantu bbaasi kye yatomedde.
Mu mawulire gaffe eggulo ku muko ogusooka twalaze nti mu bayizi abaafudde kwabaddeko John C. Luswata. Luswata tannafa kyokka y’omu ku baalumiziddwa. Twetonda olw’ensobi eno etaabadde ng'enderere.
Okugolola ensobi
era baawadde Gavumenti amagezi okuteekawo akakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa ku ntambuza y’abayizi nga bagenda okulambula, nga katuulako abakungu okuva mu minisitule ez’enjawulo ezikola ku nsonga z’abaana, poliisi, abakiikirira amasomero ag’obwannannyini, kkampuni za baddereeva ezisaabaza abantu, aba yinsuwa, abazadde, n’abakugu mu kukuuma obutebenkevu ku nguudo.
Kirabira era yasabye Gavumenti okwongera amaanyi mu kukwasisa amateeka g’oku nguudo ng'eyita mu baserikale baayo, okukozesa kkamera z’oku nguudo okuvunaana abavuga endiima n’abatikka akabindo, kubanga bye bisinga okuvaako obubenje.
DAYIREKITA BAMUSABIDDE
Eggulo waabaddewo okusaba mu maka ga dayirekita, Tadeo Ssekadde ku kyalo Kibutika e Ndejje mu Makindye Ssaabagabo, ng’aba ffamire, emikwano n’abakungubazi abalala beebaza Katonda olw’ebyo by'akozesezza omugenzi.
Wakati mu kusaba, Bp. Wilson Kitondekigya okuva ku Annointed Church e Zzana omugenzi Ssekadde gy’abadde asabira yagambye nti, ennyumba eno Ssekadde abadde yaakagiyingira emyezi esatu emabega, era baasooka kugisabira era n’amukuutira okuteekawo we banakung'aaniranga okwongera okugisabira.
Bukedde yakitegeddeko nti ennyumba eno Ssekadde alina bbulooka gwe yagigulako era bbulooka oyo okugitunda yasooka kufiirwa mukyala we bwe baagibeerangamu, ekyamuwaliriza okuginoonyeza omuguzi. Wayise emyezi esatu ne Ssekadde n’afa!
Yagambye nti, Ssekadde abadde ayagala nnyo enkulaakulana kubanga bwe yali atandika essomero lino yasooka kumwebuuzaako, era n’amulaga okusomoozebwa okuli mu masomero, kyokka n’amalirira alitandike asobole okuyamba abantu mu kitundu.
Ye ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Ying. Ian Kyeyune yawadde ekiragiro nti emmotoka yonna etambuza abayizi erina kusooka kwekebejjebwa era bannannyini masomero balina okusooka okufuna ebbaluwa eraga nti emmotoka yayise ku disitulikiti n’ekeberebwa.
Yagambye nti, teri ssomero likkirizibwa kufulumya bayizi bweru wa Wakiso, okutuusa nga limaze okufuna olukusa okuva mu bakulembeze ba disitulikiti
Tags: