ABABBI ab'ebijambiya, balumbye omusuubuzi mu dduuka, ne bamutema ebiso ku mutwe n'emikono ne bamuleka ng'azirise, n'oluvannyuma ne babulawo n'omuwendo gw'ensimbi ogutannamanyika.
Ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, Samuel Kiriga , asobodde okutemya ku poliisi era nga bali wamu ne baliraanwa, bamudusizza mu ddwaaliro e Mbale, gy'ali mu kufunira obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti tewannabaawo akwatibwa, naye ng'omuyiggo gw'abanyazi bano, gugenda mu maaso.