Amawulire

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga aguddewo eddwaliro ly'Obwakabaka e Kalasa

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga aguddewo eddwaliro ly'Obwakabaka e Kalasa mu ssaza ly'e Bulemeezi n'akunga abantu okulyeyambisa okwekuumira mu bulamu obulungi. 

Katikkiro Mayiga ng'aggulawo Muteesa II HC e Bukalasa- Bulemeezi nga July 21,2026. EKIF. DICKSON KULUMBA
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga aguddewo eddwaliro ly'Obwakabaka e Kalasa mu ssaza ly'e Bulemeezi n'akunga abantu okulyeyambisa okwekuumira mu bulamu obulungi. 

Eddwaliro lino lyabbulwamu Ssekabaka Muteesa II ng'akabonero k'okujjukira emirimu mu kutumbula eby'obulamu mu Uganda era nga liri ku mutendera gwa Lubiri (Health II). Lino   wamu n'eddwaliro ly'e Nsangi mu ssaza ly'e Busiro gaazimbibwa mu nkolagana y'Obwakabaka n'ekitongole ki Red Crescent okuva e Buwalabu ogwagunjibwawo ku mulembe Ying. JB Walusimbi ng'akutte Ddamula.

Katikkiro Mayiga ng'agaba obukooti okuli obubaka obujjumbisa abantu okwetangira Omusujja gw'ensiri

Katikkiro Mayiga ng'agaba obukooti okuli obubaka obujjumbisa abantu okwetangira Omusujja gw'ensiri

Gano gayongeddwako amalala asatu okuli ery'e Busimbi- Mityana e Ssingo nga lino lyaggulwawo, Nyenga- Kyaggwe saako Mukungwe- Masaka e Buddu.

Mayiga asinzidde wano n'alambika abantu ku nsonga ezitumbula obulamu obulungi okuli okulya obulungi, okwekebeza, okwejjanjabisa mu bakugu ate n'okusanyukangako. 

" Mulye bulungi, abaana mubaliise bulungi. Munywe nnyo amazzi si mwenge wabula amazzi ate musanyukeko. Nga tujjaguza emyaka 33 nga Kabaka Mutebi II ali ku Nnamulondo, tuzze wano okuggumiza ensonga y'obulamu nga tuggulawo eddwaliro lino mu butongole olwo Omutindo mu Bulemeezi gusituke," Mayiga bwayogedde.

Katikkiro Mayiga ng'alambuzibwa eddwaliro lye Kalasa

Katikkiro Mayiga ng'alambuzibwa eddwaliro lye Kalasa

Katikkiro Mayiga mu ngeri y'emu alagidde abantu ba Buganda mu buli maka bafube okulunda Ente nga batandikira kweeyo eyitibwa Ente ya Kabaka okufuna amata gebanywesa abaana babeere balamu bulungi ate n'okuggyamu obusa bulikirize ennimiro, bafune emmere ey'okulya. 

Minisita w'enkulakulana y'abantu ba Buganda, Choltilda Nakate Kikomeko yeyamye okuyita mu kitongole ky'ebyobulamu okulaba ng'eddwaliro lino litambulizibwa ku mutindo wamu n'okuwa abantu obujjanjabi obusoboka. 

Polof. Moses Joloba nga y'akulira emirimu mu ddwaliro lino alambuludde ku bujjanjabi obw'enjawulo bwebawa abantu n'asaba Obwakabaka okukola ku nteekateeka y'okwongera okuligaziya ate n'okufunira abasawo enju omwokusula. 

Omwami wa Kabaka atwala essaza lye Bulemeezi, Dr. Ronald Mulondo yeebazizza Kabaka olw'okuba eddwaliro lino bwatyo nebeyama okukunga abaana enzaalwa ez'ebitundu kino okuzimbira abasawo enju mwebanasulanga. 

Mu kiseera kino abasawo abatono abaliwo basula mu kayumba kyuuyikimu akali mu kifo kino!

Goliath Lumbuye ow'eggombolola ye Makulubita ng'ayogera

Goliath Lumbuye ow'eggombolola ye Makulubita ng'ayogera

Ate Omwami w'eggombolola ye Makulubita, Goliath Lumbuye agambye nti eddwaliro lino likyusizza embeera z'abantu mu kitundu kino kyokka n'asaba Obwakabaka okukola ku nsonga y'okwerula ensalo z'ettaka lya yiika 15 eryaweebwayo olw'omulimu guno. 


" Ensonga y'ettaka ngiwulidde ngenda kusindika ab'ekitongole Kya Buganda Land Board okwerula ettaka weriyita kubanga bwetumanya ensalo zaffe kituyamba ku nteekateeka z'okukulakulanya ekifo kino," Mayiga bweyeyamye.

Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka; Noah Kiyimba owa Kabineeti n'Olukiiko, Israel Kazibwe Kitooke Ow'amawulire n'okukunga abantu, obukulembeze bwa disitulikiti y'e Luweero okuli Ssentebe wa disitulikiti Erasto Kibirango n'abakungu abalala, abawereeza ku Lukiiko lw'essaza lye Bulemeezi.

Tags: