POLIISI yeeganye okubaako ky’emanyi ku by’okuwambibwa kw’eyali omubaka wa Butambala, Muhammad Muwanga Kivumbi ,bagamba nti baakoma ku byakumuyimiriza ku luguudo ebyaddako tebaamanya.
Tumugumye agambye nti Kivumbi okukwatibwa kwe tekwaliko kiragiro kya ssaabaduumizi wa poliisi era tebalinaako kiwandiiko kyonna ku byakumukwata.
Ayongeddeko nti wadde Kivumbi yayimirizibwa ku loodi bulooko ya poliisi, eby’okumukwata n’okuwambibwa tebabimanyiiko nti era abantu ba Kivumbi tebaaleese bujulizi bwonna nga balaga wadde erinnya ly’omuserikale eyakwata Kivumbi.
Poliisi eyongeddeko nti awatali bujulizi kukakasa nti poliisi ye yakwata Kivumbi, abaawaaba tebalina kyonna kye bagirumiriza ku nsonga eyo.
Kivumbi yakwatibwa nga July 10, 2026 bwe yali yaakayimbula eggulo limu ku kakalu ka kkooti ke yawaako obukadde 10 ne banne b’avunaanibwa nabo.
Wiki ewedde omulamuzi Collins Achellan yalagira abawawaabirwa okwekebera okutuusa ku Mmande balabe alina Kivumbi kyokka leero baagenze okudda mu kkooti nga tewali alina kwanukula kukakasa nti amulina.
Aduumira amagye talina kwanukula kwe yataddemu ku nsonga za Kivumbi. Okuva olwo abaffamire n’emikwano beebuza amayitire ge.
Hajji Musa Lutaaya yawawaabira omuduumizi w’amagye g’eggwanga, Gen Muhoozi Kainerugaba , aduumira poliisi Abas Byakagaba ne ssaabawolereza wa gavumenti, Dr Sam Mayanja nga baagala baleete Kivumbi mu kkooti bw’aba mulamu avunaanibwe ate bw’aba yafa babawe omulambo gwe bamuziike.
Kivumbi yasooka kukwatibwa nga January 15, 2026 eggwanga lwe lyakkira obukiisi mu kakulu ka bonna ng’okukwatibwa kwe kyaddirira ettemu eryali mu maka ge e Butambala omwafiira abantu bataano nga baakubwa masasi.
Bano bavunaanibwa gwakulya ku nsi yaabwe lukwe n’okutta abantu era ffayiro yaabwe n’okutuusa Kati ekyali mu kkooti e Butambala tebasindikibwanga mu kkooti enkulu.