OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kabinja akayingira mu bifo eby’enjawulo ne kabbamu bamukutte nga yeefudde omulwadde, n’ayingira eddwaaliro n’abbamu ensawo y’omusawo.

Ssewankambo gwe baakutte ng'abba ensawo y'omusawo.
Yasoose kutegeeza nti abeera Mbalala ate oluvannyuma abaserikale bwe baamukaliddeemu n’agamba nti abeera Bwaise akolera mu mbaawo e Kyebando.
Yawonedde watono okugajambulwa abasuubuzi ku Kalerwe bwe baamukutte lubona ng’ayingidde mu ddwaliro lya Kadish Medical Centre Dobi zzooni ku kaleerwe mu minisipaali y’e kawempe nga kigambibwa yabbyemu ensawo y’omusawo Shadia Kisakye .
Don Guminsirizza omu ku basawo mu ddwaliro yagambye nti Ssewankambo yasoose kugenda mu ddwaliro ekiro n’abasaba eddagala nga tebalirina tekyamumalidde yakomyewo enkeera okukkakkana ng’abbye ensawo y’omusawo eyabadde afulumyemu ko eddwaliro ng’ensawo agitadde w’atuula .
Kisakye yagambye nti mu nsawo mwabaaddemu emitwalo 70 saako essimu nga we baakwatidde Ssewankambo yabadde amaze okubiggyamu.
Omukwate ng’ali ku poliisi yeekalizza mu baamukutte n’agamba nti basooke bamuddize ssente emitwalo 70 ezabaadde mu waleti ye oba sikyo nabo oluva mu kkomera agenda kubaggulako omusango kuba yadde baamukutte n’ensawo naye yabadde talina kye yabbyemu .