Amawulire

Abayizi bannayuganda batadde abakulembeze ba Afrika ku nninga ku by’okutulugunya abaana

ABAYIZI basatu bannayuganda batadde bapulezidenti n’abakulembeze bonna mu Africa ku nninga, okukomya ebikolwa ebityoboola n’okutulugunya abaana naddala mu masomero agakyalemedde ku kukuba abayizi kibooko n’okubawa ebibonerezo ebikakali

Abayizi nga bali mu lukiiko olwabadde ku mutimbagano
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

ABAYIZI basatu bannayuganda batadde bapulezidenti n’abakulembeze bonna mu Africa ku nninga, okukomya ebikolwa ebityoboola n’okutulugunya abaana naddala mu masomero agakyalemedde ku kukuba abayizi kibooko n’okubawa ebibonerezo ebikakali.

Abayizi ba PEAS Horizon School nga basoma

Abayizi ba PEAS Horizon School nga basoma


Comfort Ikaidu okuva ku PEAS Horizon High School e Luweero, Mark Mukooza owa Kingstone High School e Kawempe ne Emma Mudoko okuva ku Kololo Senior Secondary School be baakubye omulanga guno bwe baabadde mu lukiiko olw’omulundi ogwokubiri olutaba amawanga ga Africa ku by’okukomya okutulugunya abaana olwatuumiddwa; ‘The Second African Union (AU) member states validation meeting on the common African position on ending violence against children’. Olukiiko luno lwatudde Addis Ababa mu Ethiopia ku Lwokuna nga July 16, 2026 wabula abaalwetabyeko baayise ku mutimbagano. 
Ng’oggyeeko abayizi bannayuganda, waabaddewo n’abalala bangi okuva mu mawanga ga Africa agenjawulo. 
Comfort Ikaidu 16, eyayogedde ku lwa banne yattottoledde abakulembeze ebizibu abaana mu Uganda bye bayitamu ku masomero ne ku byalo gye babeera nga bino kuliko; okukubwa emiggo, okuweebwa ebibonerezo ebikakali, okujoogebwa baana bannaabwe, okusosolebwa, okukabasanyizibwa n’okuvumibwa nga bali ku yintanenti.
Ikaidu yagambye nti okutulugunya abaana tekikoma ku kubakosa mibiri wabula n’obwongo  kwogatta okubalemesa okusoma abamu ne batuuka n’okuwanduka mu ssomero.

Kyokka nga bangi batya okuloopa abo ababatulugunya. Yasabye gavumenti ezenjawulo okufaayo ennyo ku baana okulaba nga bakuumibwa bulungi. 
Omulanga guno we gujjidde nga waakayita ennaku ntono bukya kkooti enkulu ewera ebibonerezo ebikakali eri abaana.

Abayizi ba PEAS Horizon School nga basoma

Abayizi ba PEAS Horizon School nga basoma

Nga July 14, 2026, omulamuzi Simon Peter Kinobe yasingisa Sir Apollo Kaggwa Primary School omusango, abasomesa babiri bwe bakkakkana ku muyizi ne bamukuba bubi nnyo. Era okwo omulamuzi Kinobe kwe yasinzidde okuwera okukuba abayizi n’okubawa ebibonerezo ekikakali nti bimenya mateeka. 
Ye Lawrence Kiggundu, akulira St. Pauline High School, Mityana, agamba nti okukuumira abaana mu mbeera ennungi nga tebatulugunyizibwa buvunaanyizibwa bwa buli ssomero, abazadde n’abantu bassekinnoomu. 
"Amasomero mangi gakyatulugunya abaana yadde nga waliwo amateeka agabakugira,” bw’agamba. 
Maureen Kizito, akulira okukuuma abaana mu kitongole kya PEAS Uganda, yasabye abazadde n’abo abalabirira abaana okubalera obulungi nga bwe babannyikiza eddembe lyabwe basobole okuloopanga abo bonna ababatulugunya.

Tags: