Amawulire

Poliisi eboye bbaasi z'amasomero 18 ezibadde zitwala abaana okulambula!

Mu kaawefube w'okussa mu nkola ebiragiro bya minisitule y'ebyenjigiriza okuyimiriza abayizi okulambula, poliisi eriko bbaasi 18 ze yakutte nga zitambuza abayizi okubatwala okulambula.

Bbaasi ya Amuria High School eyayingirira ttuleera ng'abayizi bagenda okulambula gye buvuddeko
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Mu kaawefube w'okussa mu nkola ebiragiro bya minisitule y'ebyenjigiriza okuyimiriza abayizi okulambula, poliisi eriko bbaasi 18 ze yakutte nga zitambuza abayizi okubatwala okulambula.

Baasi zino, baazikwatidde mu kikwekweto ekyakoleddwa ku lutindo e Jinja era ne zikuumirwa mu kifo ekyo n'abayizi okutuusa enkeera , olwo ne baziwa abaserikale abaziwerekeddeko okutuuka ku masomero gya baabadde bavudde.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti ebikwekweto bino bigenda mu maaso era n'alabula abazadde obutakkiriza masomero kulimba nti batwala abaana okulambula, kuba minisitule yakuyimirizza.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Bbaasi
Kubowa
Kulambula