Amawulire

Balimwezo aweze okufaafaagana n'abaagala okutwala ettaka lya masomero ga KCCA

LOODIMMEEYA wa Kampala, ssaalongo Ronald Nsubuga Balimwezo aweze okufaafaagana n'abantu abaagala okutwala ettaka lya masomero ga KCCA

Balimwezo aweze okufaafaagana n'abaagala okutwala ettaka lya masomero ga KCCA
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

LOODIMMEEYA wa Kampala, ssaalongo Ronald Nsubuga Balimwezo aweze okufaafaagana n'abantu abaagala okutwala ettaka lya masomero ga KCCA

Atwala Ebyenjigiriza Mu KCCA, Charles Maginot Ng'annyonnyola abakulu Okuva Mu Kcca Ku Mbeera Ya Masomero Gaabwe.

Atwala Ebyenjigiriza Mu KCCA, Charles Maginot Ng'annyonnyola abakulu Okuva Mu Kcca Ku Mbeera Ya Masomero Gaabwe.

Bino abyogedde bw’abadde n'abakungu ba KCCA mu kulambula amasomero gano nga baatandikidde ku Nakivubo Settlement Primary School gye baasanze embeera nga si nnungi

Harriet Ibore, omukulu w'essomero lino eririna abaana 179 alaze okusoomoozebwa kwe basanga n’ategeeza nti essomero litemeddwamu poloti ezisukka mu ttaano ne lisigazaako emu yokka.

Balina okusoomoozebwa kw'essomero lino obutabeerako kikomera ekivaako ab’ebigere n'emmotoka okuyita mu ssomero nga bwe baagadde ate nti bwe bagezaako okuziba ekkubo, waliwo abakulu mu KCCA ababalagira okuleka ekkubo eryo Muzanganda asobole okuyita mu ssomero okutuuka ku ttaka lye.

Abayizi Ba Nakivubo Blue Primary School nga balaga loodimmeeya ebimu ku bintu bye bakola.

Abayizi Ba Nakivubo Blue Primary School nga balaga loodimmeeya ebimu ku bintu bye bakola.

Ate ye Agnes Mugisha akulira essomero Nakivubo Blue Primary School naye alaze okutya olw'abantu abaagala okutwala ekitundu ku ssomero lino newankubadde bakyali mu kkooti ne Festo Kasaija agambibwa okwagala okulitwala.

Akulira essomero lya Railway Children's Primary School e Nsambya, Charles Mukisa yagambye nti bali mu kutya olwa bannakigwanyizi abaagala okutwala ettaka ly'essomero nti era yawulira oluvuuvuumo nti essomero ligenda kutundibwa ate nga tebalina nteekateeka yonna eritunda.

Balimwezo agambye nti bannabyabufuzi okuli n'omubaka wa palamenti gwe bakyanoonyerezaako be beenyigidde mu kubba ettaka lino era alagiddwa okuzzaayo ekyapa mu KCCA nga tannakwatibwa.

Cletus Nankobe Ssentebe Wa Kakiiko Akafuzi Ak'essomero Lya Nakivubo Settlement Primary School Nga Akulembeddemu Aba Kcca Mu Kulambula Essomero Lino

Cletus Nankobe Ssentebe Wa Kakiiko Akafuzi Ak'essomero Lya Nakivubo Settlement Primary School Nga Akulembeddemu Aba Kcca Mu Kulambula Essomero Lino

Loodi mmeeya asuubizza okukola okunoonyereza okuzuula eyawandiikira ebbaluwa omukulu w'essomero lya Nakivubo settlement okuggula ekkubo okuyisaamu emmotoka n’abeebigere ekitadde obulamu bwa baana mu matigga.

Balimwezo agamba olw'okumalawo kibbattaka, baakuteekawo akakiiko k'essomero akapya wabula ababadde bakola obulungi baakuddizibwako kubanga bangi beaekobanye n'abantu abakyamu okutunda n'okupangisa ebintu bya KCCA nga tebamanyi newankubadde balina kubeera bakuumi baabyo.

Tags:
KCCA
Masomero
Nakivubo Blue