ABA KCCA batabukidde kkampuni ezikola enguudo mu kibuga eziremeddwa okumaliriza mu budde nti, bagenda kuzisasuza engassi ate bazimme emirimu oluvannyuma bazigobe mu kibuga.
Batandikidde ku kkampuni ya CRSG, eyaweebwa olwa Kira Road, nga luwezezza emyezi 15 nga lukolebwa kyokka omulimu guli ku bitundu 45 ku 100 ate nga kkampuni esigazza emyezi esatu endagaano eggweeko.
Oluguudo lutandikira ku nkulungo y’e Mulago ne luyita e Kamwokya okutuuka ku poliisi ya Kira Road. Kkampuni yaweebwa obuwumbi 32 erukole ku mutindo nga luwerako obuwanvu bwa kiromita ttaano n’obutundu bubiri.
Loodi Mmeeya Ronald Balimwezo ne Mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru baalambudde oluguudo luno wabula ne basoberwa okusanga nga bakontulakita tebaliiwo.
Baagambye nti, ssinga kkampuni temaliriza mulimu guno mu bbanga erisigaddeyo baakubabonereza.
Baagasseeko nti, buli lunaku oluneeyongeramu bajja kubasasuza engassi era batandise okuwandiika lipoota era babonerezebwe.
Salim Uhuru, atwala ekitundu kino yagambye nti, abasuubuzi b’e Kamwokya, abakozesa oluguudo n’abalinako amasundiro g’amafuta ssaako abasula mu kitundu bakaluubiriziddwa nnyo.
“Enfuufu abantu bange ebalwaaza, akalippagano kabattidde buli kimu, kyokka aba kkampuni tebafaayo kwanguya,” Uhuru bwe yagambye.
Wabula kkampuni y’abakugu eya Air Water Earth Engineers eyeebuzibwako ku nkola eteekeddwa okugobererwa era eyamba ku ya SRSG, Dr. Ronald Musenze yagambye nti, basanze okusoomoozebwa kubanga oluguudo luliko akalippagano, ebintu nga waya z’amasimu ebiri wansi gattako ekika ky’amafuta kye baateekamu okukozesa koolaasi kyabakeereyezza kubanga kiva mu nsi z’Abawalabu ezikozesa akagolomolo ka Iran aka Straits of Hormuz akaggaddwa.
Yategeezezza nti, kkampuni egenda kugezaako okwanguya nga bakola misana na kiro era baataddemu okusaba bakozese ekika ky’amafuta ekirala