Amawulire

Bakunyizza minisita ku luguudo lwa Busega- Mpigi Express way

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza minisita w’enguudo Fred Byamukama ku nguudo ezirwawo okumalirizibwa.

Minisita Fred Byamukama ne ttiimu ye mu kakiiko.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza minisita w’enguudo Fred Byamukama ku nguudo ezirwawo okumalirizibwa.
Minisita Byamukama yabadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ebyenguudo n’enzimba akakubirizibwa Mwine Mpaka (Mbarara City South) ku Mmande.

Byamukama yannyonnyodde ababaka nti, olumu ku nguudo eziwemmense ssente ennyingi kyokka nga terunnaggwa olwa Busega- Mpigi Express way, Pulezidenti Museveni yamulagidde okugoba bayinginiya b’enguudo 6 abaalemwa okukola omulimu ogwabaweebwa.
Byamukama yategeezezza ababaka nti, ebbaluwa emulagira okugoba bayinginiya b’ataayogedde mannya yagifunye ku Mmande (eggulo) ku makya nga yeetegekera okweyanjula eri akakiiko, era abamu yazze nabo mu kakiiko.
Yagambye ekikwekweto kino kyakutwaliramu abalala abeenyigidde mu kukozesa obubi ensimbi ezaalina okukozesebwa mu kuzimba n’okumaliriza oluguudo luno.
Yagambye nti, kaliisoliiso wa Gavumenti mu kiseera kino agenda mu maaso n’okuggya siteetimenti ku bantu ab’enjawulo abaali bakozeeko mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo.
Enguzi ebadde eyitiridde mu minisitule, Byamukama yalaze nti, kimu ku bivuddeko enguudo ezizimbibwa obutava mu kifo ekintu ekivumanganyisa Gavumenti ne kiremesa n’abamu ku bakontulakita okukola emirimu.
Enguudo ezimu okulwawo okumalirizibwa yazudde nga kikolebwa kagenderere naddala mu kaseera k’okukakasa enfaanana y’enguudo, okugoba ku satifikeeti n’ebiringa ebyo.
Okukinogera eddagala, gye bujja Byamukama yalambuludde nti, teri kontulakiti ejja kuteekebwako mukono ssinga Gavumenti eneeba tennaba kuliyirira kitundu ky’abantu abali awalina okuyita oluguudo ebitundu 75 ku buli 100 ng’okukola oluguudo tekunnatandika.
Oluguudo lwa Busega - Mpigi Express way lwa kiromita 23 n’obutundu 7 nga luzimbibwa kkampuni ya China Civil Engineering Construction Corporation nga ensimbi ezirukola zaava mu African Development Bank.
Okuva bwe lwatandikibwa mu November, 2019, ebitundu 47 n’obutundu 15 ku buli 100 bye byakamalirizibwa nga ensimbi ezaakalusaasaanyizibwako we bwatuukira June, 2026 zaali ebitundu 49 ku buli 100.
Wadde nga lusuubirwa okumalirizibwa nga December 30, 2028, Byamukama agamba kiyinza obutasoboka.
Mu kusooka oluguudo luno gavumenti yali ya kulusaasaanyizaako obuwumbi 547 naye ensimbi ezeetaagisa okuluzimba kati ziri obuwumbi 1300. Bwe yabuuziddwa kwe basinziira okuzirinnyisa yagambye nti, abaakikola bandiba nga baali baagala kuzikumpanya era be bamu ku abo kaliisoliiso wa Gavumenti b’anoonyerezaako

Tags: