Amawulire

Ebikwata ku eyali omulabirizi Christopher Senyonjo eyafudde

OMULABIRIZI wa West Buganda eyawummula Christopher Senyonjo eyalwanirira eddembe ly’abeenyigira mu bufumbo bw’abantu b’ekikula ekimu ekyamugobya mu kuweereza afudde.

Bp. Senyonjo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULABIRIZI wa West Buganda eyawummula Christopher Senyonjo eyalwanirira eddembe ly’abeenyigira mu bufumbo bw’abantu b’ekikula ekimu ekyamugobya mu kuweereza afudde.
Yafudde ku Ssande mu ddwaaliro e Mengo gy’amaze akabanga nga mulwadde. Yali Mulabirizi wa West Buganda wakati wa 1974-1998 ajjukirwa olw’okulwanirira eddembe ly’abantu abeenyigira mu mukwano gw’ekikula ekimu ekkanisa ya Uganda n’emugoba mu buweereza mu 2001.

Ekkanisa yategeeza nti, okumuwummuza baamulanga kutuuza Rev. Tusuubira ow’enzikiriza ya Worldwide Anglican Church e Nabweru nga Omulabirizi. Mu 2006, ekkanisa ya Uganda yalangirira bw’emuggyeeko eky’Obulabirizi olw’okukolagana ne Charismatic Church of Uganda ne Episcopal Church eya America.
Olukiiko olwakubirizibwa eyali Ssaabalabirizi Henry Luke Orombi lwayimiriza Senyonjo kyokka wadde byonna baabikola, Senyonjo yasigala yeetaba mu nkung’aana ezitakwatagana na kkanisa ya Uganda mu America nga bw’agamba nti, ogugwe gwa kubudaabuda muntu yenna asoomoozebwa.
Ng’akyali Mulabirizi wa West Buganda, Senyonjo (94) mu njiri ye, teyalina buzibu na kya musajja kuwasa mukazi asukka omu ng’agamba nti, kiyambako okukendeeza obwenzi. Kigambibwa nti, enjigiriza eno yalumya abakulira ekkanisa emitwe. Yatuuzibwa ng’Omulabirizi wa West Buganda mu 1974. Yazaalibwa December 8, 1931 e Kiboga n’asomera ku Sinde P/S ne Bukomero P/S. Mu 1944, yatandika okubeera ne ssenga we e Kiti mu Kasangati gye yeegattira ku Wampewo P/S gye yava okwegatta ku King’s College Buddo mu 1947.

Tags: