Amawulire

Lwaki Gavt. ewanvuyizza eby'okuziika Moses Ali

GAVUMENTI ekoze enkyukakyuka mu ntegeka z’okuziika Gen. Moses Ali bw’eragidde aziikibwe ku Lwokuna mu bitiibwa by'amagye ebijjuvu okusiima ebirungi by’akoledde eggwanga.

Omugenzi Moses Ali
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI ekoze enkyukakyuka mu ntegeka z’okuziika Gen. Moses Ali bw’eragidde aziikibwe ku Lwokuna mu bitiibwa by'amagye ebijjuvu okusiima ebirungi by’akoledde eggwanga.
Akakiiko ka Gavumenti akasiddwaawo okukola ku ntegeka z’okuziika kaafulumizza pulogulaamu entongole egenda okugobererwa eyatandise eggulo ku Mmande.

Ku Mmande: Kwabadde kusaalira omugenzi mu maka ge agasangibwa e Naggulu. Leero ku Lwokubiri ku ssaawa 4:00 ez’oku makya, omulambo gwa kutwalibwa mu Palamenti era Pulezidenti Museveni y’agenda okubeera omukungubazi omukulu.
Ku ssaawa 8:00 ez’emisana, omulambo gutwalibwa ku kisaawe e Kololo gulinnyisibwe ennyonyi okutwalibwa mu disitulikiti y’e Adjuman. Ku ssaawa 11:00 akawungeezi ka leero, omulambo abatuuze baakugukubako eriiso evvannyuma abatuuze mu kyalo Atabu ekisangibwa mu Division ya Pakele mu disitulikiti y’e Adjuman.
Ku Lwokuna : Olukiiko lw’abakulembeze b’ekitundu kyonna ekya West Nile ne Madi baakukung’aanira mu kisaawe ky’omupiira ekya Padiri basiime emirimu gy’akoledde eggwanga.
Ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu, bagenda kumusaalira oluvannyuma aziikibwe. Eby’okumuziika byabadde bisuubirwa Lwakusatu naye Gavumenti yafulumizza pulogulaamu esembayo era yasiddwaako omukono gwa minisita akola ku nsonga za Pulezidenti Milly Babalanda.
Ekiwandiiko kye eggulo, kyalaze nti, yazaalibwa omwami Mohammed Ali ne Maama Veronica Ali ku kyalo Atabu era mu muluka gwa Atabu ekisangibwa mu ggombolola ya Pakele mu disitulikiti ya Adjuman.
Mu 1957, yamaliriza ekibiina ekyomusanvu n’afuna ebbaluwa okuva mu ssomero lya Erepi Church of Uganda
Junior School, ate mu 1964-65 yeegatta ku ssomero lya Kampala SS we yafunira ebbaluwa mu byenjigiriza.
Wakati wa 1968-1969 yagenda mu ggwanga lya Israel okutendekebwa mu magye era n’avaayo ng’abanguddwa mu bukodyo bw’okukuba emmundu n’okubuukira mu palakyuti. Mu 1972, yeeyongerayo n’afuna ebbaluwa mu magye mu bya Company Command.
Mu 2007, yagenda n’asoma amateeka mu yunivasite Wolven Hamton n’afuna ne diguli mu mateeka okuva mu MUK ate mu mwaka gwa 2008 n’amaliriza dipulooma ku LDC. Era abadde munnamateeka atuukiridde.
Ekiwandiiko kiraga nti, emyaaka 50 gy’amaze mu buweereza abadde munnabyabufuzi omukugu, munnamagye omukugu, ate munnamateeka ajjudde.
Ekiwandiiko ekiriko omukono gwa Minisita Babalanda, kyasiimye emirimu gya Gen. Moses Ali ne kitegeeza nti, akoledde nnyo ekitundu kye okutumbula obukulembeze bwa NRM mu bitundu bya West Nile ne Madi.
Omugezi yafudde ku Lwomukaaga era pulezidenti Museveni ye yamubise n’alagira nti, aziikibwe mu bitiibwa ebijjuvu

Tags: