Mufti wa Uganda, Dr. Shaban Ramathan Mubajje atenderezza omugenzi Gen.Moses Ali olw'okwagala eddiini ye ey’obusiraamu n'okwagala eggwange lye Uganda.

Omulambo gwa Gen. Moses Ali nga bagusaalira.
Moses Ali bamwogeddeko nga omu ku baakulemberamu okuteesa ne Gadafi okuzimba omuzikiti guno ogwa Old Kampala.

Sheikh Mubajje ng'ayogera.
Gavumenti ekiikiriddwa omumyuka wa ssaabaminisita wa Uganda, Lukia Nakadaama , ono ayogedde ku Gen.Moses Ali ng'abadde omuntu owa bantu bonna nga ky’eragidde ku ky’okubeera ng'emizikiti gyonna emikulu mu Uganda gimusaalidde.
Nakadaama asiimye pulezidenti olw'okukkiriza okuziika Gen. Moses Ali mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu.

minisita omubeezi ow'ebyokwerinda Huda Oreru (ku kkono),minisita Minsa Kabanda ,omumyuka wa ssabaminisita ow'okusatu Lukia Nakadama n'abalala
Captain Mike Mukula ,mukwano gw'omugenzi amwogeddeko ng'omusajja abadde ayagala eggwanga lye n’omutima gumu era omwerufu.
Okusaalira omugenzi kwetabiddwako abantu bangi okubadde minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda, ddayirekita wa KCCA Sharifah Buzeki n'abalala bangi.