Amawulire

Gavt. yeeyamye ku luguudo lwa Kiboga- Busunju- Hoima

GAVUMENTI yeeyamye okwanguya okufulumya ensimbi ez’okukola oluguudo oluva e Busunju - Kiboga okutuuka e Hoima.

Minisita Siraji Musa Ali (ku kkono), Simon Byakira, Ying. Kabazira ne Haji Juma Kalema owa Abubaker Technical Services and General Supplies ku luguudo lwa Kiboga- Busunju- Hoima.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI yeeyamye okwanguya okufulumya ensimbi ez’okukola oluguudo oluva e Busunju - Kiboga okutuuka e Hoima. Oluguudo luno nga luliko obuwanvu bwa kiromita 145 nga luli mu kuzzibwa buggya lwe lumu kw’ezo ezitunuuliddwa okuyitwamu abazannyi n’abawagizi b’empaka z’omupiira mu kikopo kya AFCON.
Minisita omubeezi ow’eby’enguudo, Siraji Musa Ali, mu kulambula omulimu ogukolebwa ku luguudo luno yagambye nti, gavumenti yaakulaba nga kontulakita afuna ssente mu budde.

Oluguudo luno lwaweebwa kkampuni ya Abubaker Technical Services and General Supplies mu 2023 nga lwabadde lulina okuggwa ku ntandikwa y’omwaka guno wabula ne bongerwayo omwaka okutuusa mu mwezi gwa February 2027.
Akulira kkampuni eno, Hajji Juma Kalema yagambye nti, ezimu ku nsonga lwaki oluguudo luno luluddewo okuggwa mubaddemu olutalo mu Middle East gye baggya ebimu ku bye beeyambisa mu kukola koolaasi n’ebirala.
Oluguudo luno ng’oggyeeko empaka za AFCON, lwe lumu kw’ezo ezigatta ku nguudo ez’enkizo ezaakolebwa mu nteekateeka y’amafuta agali mu bitundu bya Bunyoro.
Ying. Irene Kabazira, okuva mu minisitule y’enguudo avunaanyizibwa ku pulojekiti eno yagambye nti, ekitundu ekyakayiibwa koolaasi kiwezezza kiromita 55.

Tags: