POLIISI etegeezezza nga bwe yeetegese obulungi okukuuma Bannayuganda mu kiseera ky'okunoonya obululu n'okulonda kw'obukiiko bwa LC wonna mu ggwanga.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga , Kituuma Rusoke, agambye nti baasisinkanye akulira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga era ng'akafubo keetabyemu aduumira poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba n'abakungu ba poliisi abalala .
Agasseeko nti keetabiddwamu n'abalala okuva mu bitongole eby'enjawulo okutemera awamu empenda mu kalulu kano.
Agumizza Bannayuganda okubeera abagumu n'okubeera obulindaala, nga bagondera ebiragiro n'okukolagana obulungi n'ebitongole ebikuumaddembe.