Amawulire

Akabenje katuze 4 e Matanga ku lw'e Masaka!

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Matanga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka .

Akabenje katuze 4 e Matanga ku lw'e Masaka!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Matanga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka .

Ddereeva wa Fuso yamunyize mu maaso n'emumalawo!

Ddereeva wa Fuso yamunyize mu maaso n'emumalawo!

Akabenje kabaddemu mmotoka FUSO box body nnamba UBQ 238Q  bw'etomereganye ne lukululana nnamba CGO 9638AF / 19 CGO 651AA Benzi ng'ebadde evugibwa Syaunswa Kanyamunyu nga y'omu ku bafiiriddewo.

Kigambibwa nti ebadde eva Masaka okudda e Kampala, bw'etuuse e Matanga ddereeva n'ayagala ayise kwe kwambalagana ne FUSO.

Lukululana eyeeyingiridde ne Fuso.

Lukululana eyeeyingiridde ne Fuso.

Abafudde, kuliko abasajja basatu mu Fuso ne ddereeva wa tuleera ate omuntu omu n'alumizibwa ali mu ddwaaliro e Masaka.

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agambye nti okunoonyereza ekivuddeko akabenje , kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Masaka
Kabenje
Kutuga
Matanga